Omwana w’emyaka 14 alina akawuka kassiriimu akonkomalidde mu ddwaliro ly’e Kiwoko oluvannyuma lw’abazaddebe okumusuulawo.
Omwana omulenzi ono yaweebwa ekitanda oluvannyuma lw’okufuna obulwadde obuva ku kirwadde kya siriimu.
Ono yali yasuulibwa mu maka ga jjajjawe e Wankwale mu Nakaseke nga talina bujjanjjabi bwonna
Nga July 10, omwana ono yeekubira enduulu ku poliisi eyamutwala ddwaliro nakati gyakyali.
Paul Mugisha, abudaabuda abalina siriimu mu ddwaliro ly’e Kiwoko, yagambye nti omuvubuka yaleetebwa mu ddwaliro nga mukovvu nnyo wamu n’okuba n’amabwa ku mubiri .
Ono, agamba nti yali erya omulundi gumu gwokka oba oluusi obutaliira ddala kyokka nga agamba nti tamanyi maamawe gyali.
Jjajjawe Alex Bambasi agamba tayagala mwana ono adde waka kubanga talina busobozi bumulabirira.
Ono agamba nti omwana ono yaleetebwa ewuwe abantu abataategeerekeka era nga naye tamanyi nnyina gyali.
Pastor William Kintu, akulira ekitongole ekikola ku balina siriimu mu ddwaliro ly’e Kiwoko agamba nti bagezezzaako okuyamba omwana nga bamuwa obujjanjjabi wamu n’okumuwa ebyokulya.
Kyokka Kintu, agamba nti eddwaliro lyali lyagala okusiibula omwnaa ono wiiki ewedde kyokka nga talina wakulaga.
URN