Bya Samuel Stuart Jjingo
Kyaddondo
Minisita w’Obuwangwa, Ennono, Embiri n’Obulambuzi,Oweek. Dr. Anthony Wamala asabye abantu okwettanira okuwandiika ebyafaayo era babisome kiyambe okubimanyisa n’emijiji egirijja mu butuufu bwabyo.
Okusaba kuno Minisita Wamala akukoze bw’abadde akulembeddemu Akakiiko k’Obuwangwa, Ennono, Embiri n’Obulambuzi okulambula ebifo eby’Obuwangwa okuli; Olusaka lwa Nnamasole e Bbumbu, Kiteezi, Amasiro g’Ekasubi n’Ekitongole kya Buganda Heritage & Tourism Board.
“Mweyune etterekero lino ery’ebitabo lino kubanga lirimu ebitabo bingi ebikwata ku bintu ebyenjawulo wamu ewaffe neebunaayira. Abantu abawandiika ebitabo bwebakikola netutabisoma amagezi gebataddemu gabeera gafudde bwereere,” Dr. Wamala bw’annyonnyodde.
Owek. Wamala ategeezezza nti amawanga mangi eby’obulambuzi byabwe byakuyiiyiriza naye ebya Buganda byoleka obuyiiya n’obugunjufu obwaliwo mu byasa ebiyise.
Akuutidde abantu okukomya endowooza y’obuwangwa kubeera kusamira kubanga kino kisukkako wano neribeera ettofaali eryawula omuntu omu ku mulala nga bwekityo birina okutereezebwa n’okulambulwa abantu basobole okubimanya n’okubyagala.
Amyuka Ssentebe w’Akakiiko kano, Owek. Ddamulira Kawuma Joseph yeebazizza olw’omutindo gw’ emirimu egikoleddwa ku bifo ebyenjawulo ebirambuddwa era naasaba abantu okugenda okulaba ebifo ng’ Amasiro okutegeera obulungi ensonga.
Ono asabye abantu bulijjo okufaayo okusoma ebyafaayo bibayambe okutegeera obuvo bwabwe n’obuddo.
Omuyima w’Abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, Owek. Dr. Rashid Lukwago akunze abantu okuvaayo balambule Amasiro n’Etterekero ly’ ebitabo bongere okuwagala obwongo bwabwe.
Mu kulambula kuno, Minisita ne bammemba b’akakiiko bawerekeddwako abantu ab’enjawulo okubadde ne Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko.