
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Mnisita w’Obuwangwa, Ennono n’Embiri mu Bwakabaka, Owek. Anthony Wamala asabye abantu ba Kabaka okuddayo okunyweza obukulembeze mu Bika byabwe okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Owek.Wamala, okwogera bino abadde atikkula Abaami ba Kabaka abakadde okuleeta Oluwalo okuva e Busiro,Mawokota, Kyaddondo ne Ssingo mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano.
Ono agamba nti kigwanidde okunyweza obukulembeze mu bika byabwe ate bayigiriza n’abaana babwe obukulu bw’ennono n’obuwangwa basobole okukula nga balimu ensa.
Dr. Wamala akuutidde abaana ba Nambi okukomya enjawukana n’okwesosola mu mawanga nti kuba Ssaabasajja abagala bali muntu omu.

Omwami w’Essaza Mawokota Kayima Sarah Nannono Kaweesi kulwa banne abasabye Abaami ba Kabaka okukola obutebalira bakulaakulanye abantu ba Beene n’okuzza Obuganda Ku ntikko.
Abakulembeze mu Gavumenti Eyawakati abeetabye ku mukolo guno nga bakuliddwamu omubaka wa Munisipaali y’ Entebbe, Micheal Kakembo Mbwatekamwa, babulidde Katikkiro ng’abaana ba Nambi bwebasuse Okwelwanyisa bokka nabokka ekintu ekigenda okwongera okuleetawo enjawukana n’okunafuya Obuganda.
Omukola guno gwetabidwako Abaami b’Amasaza abenjawulo okuli; Ssebwana, Charles Kiberu Kisiriiza, owa Mawokota Kayima Sarah Nannono , Abaami b’e ggombolola, bannabyabufuzi, abayizi b’amasomero kwosa n’abantu abalala.