Bya Francis Ndugwa
Naggalama – Kyaggwe
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Owek. Dr. Anthony Wamala, akubirizza abantu abali mu bulambuzi okubeera abayiiya ennyo kibasobozese okussaawo eby’obulambuzi ebisikiriza abantu.
Okwogera bino, Owek. Wamala abadde akyaddeko mu kifo ky’obulambuzi ekya Ewaffe Cultural Village, e Naggalama mu Kyaggwe.
Owek. Wamala agambye nti omutindo gw’obulambuzi gwesigamizibwa ku buyiiya bw’ababulimu nga y’engeri yokka esobola okubitumbula.
Akubirizza abantu okussa essira ku buwangwa n’enneeyisa yaffe era ne yeebaza nnyo abatandiisi ba Ewaffe Cultural Village olw’amaanyi ge batadde mu nsonga eno.
Omutandisi w’ekifo kino Omuky. Nabwanika Aisha, agambye nti ekiruubirira kyabwe mu kutandika ekifo kino kwe kukuuma n’okutumbula obuwangwa n’ennono za Buganda nga babisomesa abaana n’abantu abakulu abatabimanyi.
Nabwanika annyonnyodde nti ekifo kino baakitandika okuyamba abakyala n’abavubuka okufuna emirimu n’okukulaakulanya ekitundu kyabwe.
Ewaffe Cultural Village kifo kya bulambuzi ekissa essira ku nneeyisa y’omuganda omuli emmere gy’alya n’engeri gy’etegekebwamu, eddali ly’obutonde ly’akozesa, ebivuga, ennyimba n’amazina, emirimu gy’omuganda omuli okulima, okuvuba, okukomaga, obulunzi n’ebirala.
Minisita ku bugenyi buno abadde awerekeddwako Ssenkulu w’Ekitongole ky’Obulambuzi mu Bwakabaka, Omuk. Albert Kasozi, Owoomuluka Naggalama Omw. Kiwanuka Lawrence, n’abaweereza abalala.