
Bya Samuel Stuart Jjingo
Kyanamukaaka – Buddu
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek Dr. Anthony Wamala alambudde Obutaka bw’Ekika ky’Ekinyomo e Kyasa Zzimwe mu ggombolola ye Kyanamukaka, Buddu.
Okulambula kuno, Owek. Wamala akukoze ku Lwakutaano naasaba abakulembeze baayo n’abazzukulu okukola n’okwagala bakulaakulane.
Minisita Wamala asoose kulamuzibwa mbuga y’Ekika awamu n’Embuga ya Kawannaku nga wano abazukkulu webakunganira okwanjulira bajjajabwe ebisoomozo n’ebirungi ebituukiddwako mu kika.
Owek. Wamala abakuutidde okukozesa obukulembeze bwabwe okusikiriza abazzukulu okutambulira awamu nabo.
Minisita asabye Omutaka Nakigoye okukakasa nti buli mukulembeze mu kika kino nga atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe kiyambeko okwanguya enteekateeka z’Ekika.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba asanyukidde nnyo enteekateeka y’obukulembeze obuli mu kika kino ekibaleetedde okutwaala obukulembeze bw’eggwanga n’Obwakabaka kyagamba nti kitangaazizza ebiseera eby’omu maaso.

Omukulu w’Ekika ky’Ekinyomo Omutaka Nakigoye Lukabya Nabimba Samson asabye Obwakabaka okubakwatirako mu byebakola kibayambeko okusituka.
Omutaka asanyukidde nnyo Minisita ebirowoozo byabawadde okwekulakulaanya neyeyama okubikozesa okutambuza emirimu gy’ekika.
Katikkiro w’Ekika kino Mw. Peter Ssenkungu Kigoye annyonnyodde nti bali mu kaweefube w’okulaba nti abazzukulu bamanya Amasiga mwebava naye kino bakitandikidde mu kunyweza bukulembeze mu kika kyabwe.