
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa atongozza olukiiko olugenda okusunsula abakulembeze ba CBS- PEWOSA mu Kyaddondo.
Owek. Waggwa olukiiko luno alutongoleza mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna nga luno lugenda kukulirwa Omuk. Stephen Muyunga nga Ssentebe ate omuwandiisi abeere Muky. Nabisere Hanifah ate Mw. Ssebaggala Henry ne Muky. Nansubuga Barbra bammemba.
Olukiiko luno, Owek. Nsibirwa alusabye okutuukiriza obvuvunaanyizibwa buno mu bwesimbu, n’akowoola bonna abaagala obukulembeze obwo okujja bavuganye mu mazima n’obwenkanya.

Owek. Waggwa era akunze abantu okwettanira ekibiina kya CBS-PEWOSA basobole okwekulaakulanya n’okwegobako ekizibu ky’obwavu kubanga obwegassi gemaanyi.
Ye alondeddwa ku bwassentebe, Omuk. Muyunga Stephen agamba nti Ssaabasajja Kabaka okumulengera naamuwa obuvunanyizibwa mu kifo ekikulu bwekiti, kabonero kalungi akamwongedde amaanyi okuweereza Kabaka we n’okusigala nga atambulira ku mpagi z’Obuntubulamu.
Kinajjukirwa nti CBS PEWOSA – Kyaddondo, erina ba mmemba abasoba mu 26000, ng’olukiiko lufugibwa Omuk. Michael Kawooya Mwebe, nga ssentebe ow’ekiseera wabula ono ekisanja kye kyaweddeko nga kati waliwo obwetaavu okufuna abakulembeze abaggya.