
Bya Ssemakula John
Kampala -Kyaddondo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’ Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu bulijjo okunoonya amagezi babangulwe era bakomye okusuubiriza mu gavumenti okubayamba buli kadde.
Obubaka buno Owek. Waggwa abuweredde ku mukolo kwayanjulidde olukiiko olugenda olundoola ebibiina by’obwegassi wansi w’Obwakabaka nga buyita mu Buganda Cooperative Agency ku Lwokuna wano mu Kampala.
Owek. Waggwa agamba nti tekikola makulu abantu okukaabirira gavumenti naye nga tebalina mulimu gwonna mwebenyigidde kulaba nti balwanyisa obwavu.

Owek. Nsibirwa asabye abakulembeze mu Bwakabaka okukola ekisoboka okusomesa abantu ba Kabaka okukyuusa endaba y’ebintu nendowooza yabwe okusobola okubaako ekyenjawulo kyebakola okwekulaakulanya mu kifo ku kuyimba oluyimba lw’obwavu.
Mungeri yeemu abategeezezza nti Obwakabaka bwakwongera okuyambako ebibiina ebyobwegassi okubufula bbanka ezisobola okuyamba abantu .
Olukiiko luno luliko abantu 7 era nga lukelemberwa Omukungu JosepheWilliam Kitandwe ng’ono amyukibwa Dr Ben Ssembajwe , Omuk Harrison Richard kaziro. Omuk Methodius Bakkabulindi Kasujja, Omuk Abdul Karim sserwadda. Omuk Aidah Nakawunde n’Omukungu Ali Nkalubo Zizinga.

Ssentebe w’Olukiiko olufuzi, Omukungu Joseph William Kitandwe ategeezezza nti obwegassi yeemu ku nkola abantu mwebayinza okuyita okwekulaakulanya Kyokka nga balina okwekenenya ennyo okusobola okulongoosa obuwereeza bw’ebibiina bino.
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, obulunzi n’obwegassi, Owek. Hajji Amis Mukasa Kakomo agambye nti akakiiko akayanjuddwa kakuyambako okulambika ebibiina okwongera okwekulakulanya kubanga Obwakabaka bwagala nnyo okutumbula omutindo gw’ebibiina by’obwegassi.
Ye minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Owek.Mariam Mayanja Nkalubo ategeezezza nti nga bayita mu kitongole kino baakulaba ng’ebibiina ebirala bitandikibwawo basobole okuyamba abantu ba beene okweggya mubwavu.