
Bya Musasi Waffe
Omumyuka Ow’okubiri owa KatikkiroOweek. Robert Waggwa Nsibirwa, agamba nti mu bulamu omuntu yeetaaga ebintu 4; Katonda, amaka amalungi, emikwano, n’obulamu obulungi era ategeezeza nti bino omuntu bw’abifuna asaana okwebaza Katonda.
Obubaka buno Owek. Nsibirwa abuweeredde Zzitwe, Bukunja mu Ssaza Kyaggwe mu kuggulawo ekkanisa ya St.Stephen COU eyazimbiddwa Omukubiriza w’olukiiko lw’essaza Omuk.Jonathan Ntulume Kwagala.

Omuwanika Nsibirwa alaze obwennyamivu olw’abantu abalemedde mu mbeera ey’okweyawulayawula nga beekwasa obusongasonga era asabye abantu ba Buganda okunyweza obumu kibayambe okwekulaakulanya.
Owek.Waggwa akubirizza Bannakyaggwe okulima emmwanyi n’amatooke beegobeko obwavu n’ebbula ly’emmere basobole okulaakulana.
Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu yagguddewo ekkanisa eno mu butongole era mu kubuulira kwe asabye Abakunja okuva mu byokweraguza wabula banyiikire okukola ate beekwate ne Katonda ayongere okubasitula.

Omwami w’Essaza Ssekiboobo Vincent Matovu naye asinzidde wano n’akubiriza abantu obuteetundako ttaka wabula balikozese okwekulaakulanya nga balikolerako ebivaamu ssente ng’okulima emmwanyi, bano era abakubirizza okusomesa abaana mu masomero ate n’okubasigamu empisa.
Omuk. Ntulume asiimiddwa nnyo olw’okuzimba ekkanisa mu kitundu, era abantu basabiddwa okumulabirako obuteemalira mu kibuga wabula okuddayo okukulaakulanya gye bava.
Omukolo gwetabiddwako Ssaabaganzi, Namasole Omukulu w’Ekika ky’Empindi, Abakiise mu lukiiko lwa Buganda, Bannaddiini, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Abakulembeze mu Gavumenti eyawakati n’abalala.









