Bya Rachael Namuli
Entebbe
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, atongoza enteekateeka y’Ekitawuluzi eyawomebwamu omutwe ab’ekitongole kya Uganda Law Society ne Buganda Law Chambers awamu ne bbanka ya DFCU okusobola okutuusa obwenkanya ku bantu era mu bwangu.
Omukolo guno guyindidde mu ggombolola ye Katabi mu Busiro ku Lwokubiri era Owek. Waggwa Nsibirwa alaze obukulu bw’ Ebitawuluzi bino nasaba abantu okweyambisa omukisa guno kuba bakuyambibwa ku bwerere.
“Alikaaba nga bamubbye oba nga bamututeko ekikye gulibeera gumusinze nnyo. Njagala okubiriza abaami ba Kabaka abantu baffe tubakunge,” Owek. Nsibirwa bw’agambye.
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti enkola eno egenda kutambuzibwa mu masaza ag’enjawulo okuli; Busiro, Mawokota ne Buddu era Obwakabaka bujja kuwaayo woofiisi emirimu mwegigenda okutambulirira kiyambe okutumbula embeera z’abantu.
Asabye abantu ba Buganda okweyuna ebitawuluzi bino okusobola okuzibuka amaaso ku nsonga z’ amateeka ze babadde tebamanyi nokutambula nokumanya okwewala abafere basobole okutambuza obulamu bwabwe obulungi.
Abantu abenjawulo basanyukidde enteekateeka eno era nebeebaza Ssaabasajja okulengera ewala okutaasa abantu be.
Ebitawuluzi bino bisuubirwa okuyambako mu kuzza emirembe mu bantu olw’okutondawo okukaanya mu Bantu.