
Bya Ssemakula John
Mpigi – Mawokota
Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abavubuka okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka basobole okweggya mu bwavu n’okukyusa embeera zaabwe era bakulaakulane.
Okusaba bwati, Owek. Waggwa abadde alambula abantu ba Kabaka ku kyalo Buyaaya mu ssaza Mawokota abeegattira mu kibiina kya CBS-Pewesa eky’obwegassi wakati mu nteekateeka z’okukunga abantu ba Kabaka okutereka n’okusiga ensimbi nga beesigama ku bumu nga abadde .
“Enteekateeka bw’ejja bweti omulimu gwe mubeera mulina guli gumu, gwakugyenyigiramu, muweeyo obudde, muyige muganyulwe ate nammwe mukwate ku bannammwe abalala ku mukono kubanga Buganda okugenda ku ntikko nga buli omu akeera n’abaako ky’akola.” Owek. Waggwa bw’ategeezezza.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era asinzidde wano n’alabula amasomero agasosola abaana abaliko obulemu nti si kirungi era basaanye okukikomya.
Mu kulambula kuno, Owek. Waggwa, awerekeddwako ssentebe wa CBS- Pewosa mu ggwanga, owek.Hajji Kaddu Kiberu, akulira leediyo ya CBS Omuk. Micheal Kawooya Mwebe, akulira ekitongole kya CBS – PEWOSA, Omuk. Florence Luwedde nga bali wamu ne bannamikago okuva mu Stormme Foundation era bano balambudde Pulojekiti ez’enjawulo.
Ssenkulu wa CBS, Omuk. Micheal Kawooya Mwebe yeebaziza abantu ba Kabaka okujjumbira enteekateeka ya CBS eno n’agamba nti ekigendererwa kyabwe kwe kukwatira ku bavubuka abeetaaga obukugu obw’enjawulo.
Omukungu w’ekitongole kya Stormme Foundation, Isabella Collett Sikel yasabye abavubuka okwettanira emirimu gy’emikono okusobola okuvvuunuka ebbula ly’emirimu eriri mu ggwanga awamu n’okukyusa embeera y’ebyenfuna byabwe.
Ekitongole kya CBS-Pewosa nga kiri wamu n’aba Stormme Foundation baliko essomero lya Nursery lye bazimbye ku kyalo Katulaga -Mawokota era liweereddwayo mu butongole.
Abamu ku bammemba b’ekibiina kino baategeezezza nti wadde batandise mwaka guno naye basobodde okusenvula era baliko ne pulojekiti ez’enjawulo ze batandise mu bibiina byabwe omusanvu nga basobodde okwongera amaanyi mu bbizineesi zaabwe okuli okukola amanda n’ebigimusa.









