Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibrwa asabye abasajja okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya kiyambe okwanguya okutuula ekirwadde kino ku nfeete.
Okwogera bino, Owek. Waggwa abadde atikkula Amakula okuva mu bantu ba Kabaka ab’e Buddu ab’eggombolola ya Mutuba 6 Katwe mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.
“Okuva Ssaabasajja lweyenyigira mu mulimu ogwo, obutundutundu bw’ abantu abalina Mukenenya mu Buganda buzze bukendeera mwaka ku mwaka. Era bwotunula mu bibalo n’emiwendo ojja kulaba nti Buddu yali bwati era kati ali bwati. Wabaddewo okugenda mu maaso kwamanyi nnyo nga mukama waffe atukulembedde mu nsonga eno,” Owek. Waggwa bw’agambye.
Owek. Waggwa ategeezezza nti Beene bweyali alonda omulamwa gw’emisinde gy’omwaka guno, yalagira baami okubeera abasaale mukulwanyisa Mukenenya kiyambe okutaasa abaana ab’obuwala.
Nsibirwa alaze okutya nti wadde wabaddewo okukendeera kw’ ekirwadde kino naye kikyasimbye amakanda mu Buganda naddala e Buddu ne Ssese nasaba abaami kuluno okuvaayo mu bungi okubulwanyisa.
Ono ajjukiza abantu bano nti ekifundikwa kya Buganda ye Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era nabasaba bamanye nti amaanyi ge gali mu bantu.
Owek. Waggwa bano abasiimye okunyweza ennono y’okukiika embuga n’okuleeta Amakula kuba eyo yengeri gyebasobola okulabiriramu embiri za Kabaka.
Bano ababadde bakulembeddwamu omwami w’ eggombolola eno, Zawedde Gertrude Muteesasira n’Olukiiko lwawereza nalwo baweze okwongera okuwagira enteekateeka za Buganda mu mbeera yonna.
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka omuk. Moses Luutu bano abeebaziza olw’okunyweza ennono zabwe ate n’ebafaayo okuzituukiriza era n’abakubiriza okwewala okuggyibwa ku mulamwa ebyogerwa ku mmwannyi wabula bannyikize okugirima kubanga kya bugagga.
Amakula agaleeteddwa mubaddemu ebisolo , emmere , ebibala n’ebintu ebirala.