Bya Shafik Miiro
Kasangati – Kyaddondo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu abalina okuyambako kwabo abatalina kubanga kino kye kifuula abantu n’okubeeramu obuntu.
Obubaka buno abuwadde akiikiridde Katikkiro mu nsisinkano ya Bannalotale b’e Kasangati kwebasiimidde abantu abakoze ebyenkizo mukitundu kino.
“Ekikufuula omuntu kwe kubaako gw’oyamba mu kyama oba kale ne mu lwatu nga tomulinaako luganda oba kakwate konna era awatali kusuubira kufunamu mu ngeri yonna, eyo y’ennono ya Bannalotale gye twagala okunnyikiza mu bantu bonna” Owek. Nsibirwa.
Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti mu nkola ya Rotary mu Nsi yonna buli ntandikwa ya mwaka, ebibiina eby’enjawulo birondoola ekitongole oba omuntu akoze obuweereza obw’enjawulo obw’enkulaakulana mu bantu okusitula embeera zaabwe, ono aweebwa ekirabo okumusiima olwo abeere eky’okulabirako eri abantu abalala okumanya nti ekikola omuntu kwe kufaayo ku bantu abalala mu kitundu kye.
Owek. Nsibirwa era akwasiza Omubuulizi Joshua Mugooda engule emusiima eyamuweereddwa Bannalotale b’e Kasangati okusiima emirimu gyakoze mu kkanisa ya St. Paul mu busumba bw’e Kanyanya mu busaabadinkoni bw’e Gayaza ng’omubuulizi.
Pulezidenti wa Rotary Club y’e Kasangati Omuky. Maureen Birungi agamba nti nga Bannalotale b’e Kasangati babadde balondoola emirimu Omusumba Mugooda gy’akoledde abantu b’e Manyangwa mu byenjigiriza, ebyobulamu, okuyamba ku bakadde okubazimbira ennyumba, ate n’okuzimba ekkanisa ya All Saints Manyangwa.
Mu kukwasibwa engule emusiima, Omubuulizi Mugooda aweze okugenda mu maaso n’okukwata ku bulamu bw’abantu abalala ng’agamba nti okusiimibwa kimwongedde maanyi kuweereza era yebazizza nnyo Bannalotale be Kasangati okusiima by’akola.
Mu nsisinkano eno, Owek. Nsibirwa awadde Bannalotale omusomo ku mulamwa gw’omugaso gw’amaka mu kuzimba omwana okubeera omulungi mu buweereza obw’ekikugu, wano ategeezeza nti amaka omuntu w’atandikira okuyiga empisa, okukola n’okumanya ebintu eby’enjawulo era omwana by’ayiga mu buto by’akula akola.