
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’okutumbula ebitone Owek. Robert Sserwanga asabye abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo okwekiririzaamu okusobola okufuna mu mirimu egy’enjawulo.
Bino Minisita Sserwanga abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’abavubuka abegattira mu kampuni ya Morel Agency and Modeling ababadde bakulembeddwamu Ssentebe wabwe Kaggwa Joseph abakiise embuga ku Lwokusatu.
Owek. Sserwanga ategeezezza abavubuka bano okufuba okukola emirimu gyabwe n’obukugu bwebaba baagala okufunamu n’okugasa eggwanga lyabwe olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Ono annyonnyodde nti Minisitule ye eyaniriza abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo okubayambako okubasitula okubaggya ku ddaala erimu okudda ku ddala.
Ssaalongo Sserwanga yeeebazizza Olw’okwagala Buganda nabakakasa nti okukiika embuga kulina enzigi kwezibagulidde wadde nga kino bayinza obutakirabirawo naye bakimanye nti ensi etandise okutegeera emirimu gyabwe gyebakola
Ssentebe wa kampuni eno, Joseph Kaggwa agambye nti baagadde okufuna eddoboozi elyawaggulu okubasobozesa okuwa emirimu gyabwe ettutumu bafunemu era basobole okuyambako ku bantu abalala.
Abavubuka bano era baguze Satifikeeti era Owek. Sserwanga nabeebaza olw’okuvaayo okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo.