Bya Ssemakula John
Ggomba
Abavubuka mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo bakubiriziddwa okujjumbira obulimi kibayambe okutumbula n’okukyusa embeera yaabwe.
Entanda eno ebaweereddwa Minisita w’abavubuka, Henry Ssekabembe Kiberi bw’abadde abangula abavubuka mu ssaza lye Ggomba ku ngeri gye basobola okukyusamu obulamu bwabwe.
“Eggombolola terisobola kukwata ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka nemukwatako yiika ttaano, nti essaza yiika 10, omuluka yiika waakiri 2, Nti mwe abavubuka mu buli kyalo temusobola kukeera ku makya nemwekolamu omulimu nti tulina abavubuka bataano abagenda okukola ng’ekyokulabirako nga balimye,” Owek Ssekabembe bw’abasabye.
Minisita Ssekabembe abasabye okwegatta bakole ebibiina byobwegassi kubanga eggwanika wamu ne bannamikago abaagala okukyusa obulamu bw’abantu ba Ssaabasajja beetegefu okubakwatirako.
Ono era abasabye okwesonyiwa ebyokudalimba, bekkiririzeemu basobole okufuuka ab’obuvunaanyizibwa bakyusa eggwanga okulifuula eryeyagaza.
Minisita abalabudde okukomya okuzannyira mu bukulembeze bw’eggwanga nga balonda abantu abataliimu nsa olw’okuba balina obuyigirize era nga bafunye n’essente naye nga tebalina kye bagenda kuyamba bannansi.
Akunze abavubuka okujjumbira enteekateeka za gavumenti bave mu kuzannya eby’obufuzi ebyekito nga bagaana okuzeetabamu nga balowooza nti za NRM nebatamanya nti ziva mu nsimbi ze bawaayo mu musolo.
Owek. Ssekabembe yatandise nakulambula ebibiina by’abavubuka ebyenjawulo omubadde abatumbula ebitone, n’oluvannyuma n’abasisinkana ku ttendekero lya Kabulasoke PTC okwongera okubabangula.
Mu kubangula kuno, Owek. Ssekabembe ayambiddwako, ssentebe w’ebibiina by’abavubuka mu Buganda Joseph Balikuddembe n’Omuteesiteesi mu Minisitule y’abavubuka mu Bwakabaka Hassan Kiyemba ne Kitunzi Jackson Musisi.
Ate ye atwala essaza Ggomba Kitunzi Jackson Musisi, yeebaziza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka eno kubanga egenda kuyamba okukyusa obulamu bw’abavubuka mu Buganda.
Omu ku bavubuka Derrick Nsubuga ku lwa banne asiimye Minisita Ssekabembe n’asuubiza okukunga banne baddeyo ku nkumbi basobole okukyusa obulamu bwabwe naye n’asaba Minisita agambe ku bannabyabufuzi kubanga baawuddeyawudde mu bantu ba Kabaka.
Mu nteekateeka eno, Owek. Ssekabembe ne ttiimu ye, baakalambula amasaza 9 mu Bwakabaka bwa Buganda era nga yonna gy’ayise azze akuutira abavubuka okulaba okukyusa embeera zaabwe.