Bya Francis Ndugwa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Okwewummuzaamu Owek.Henry Ssekabembe Kiberu akunze abantu ba Kabaka okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera egy’enjawulo kiyambe okutuusa empeereza ku bantu abagyetaaga.
Okwogera bino, Owek. Ssekabembe abadde atikkula Amakula okuva mu bantu ba Kabaka okuva mu ggombolola ya Ssaabaddu Katabi mu Busiro ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna.
“Buganda mu by’obufuzi bya Uganda eriwa, tulina okuba mu by’obufuzi toyinza kukeera kumakya nga gwe watondebwa nti nze njakulemberwa bukulemberwa, tosobola kukeera ku makya nga buli kaseera gwe wemulugunya ku basajja,” Owek. Ssekabembe bw’ategeezezza.
Ono asabye abantu bulijjo okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe era bategeere byebalina okwagala n’ebyo byebalina okukyawa awamu n’okusoosowaza eby’ amakulu gyebali kibanguyize okuwangula ensi.
Owek. Ssekabembe bano abawadde amagezi okumanya nti tebalina muntu yenna gwebavuganya naye mu nsi naye beevuganya bokka.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe kino kijja kubayamba okuva ku ddaala erimu okutuuka ku ddala era bwe buufu Buganda bwekutte okulaba nti ey’enkya esinga kweyo eriwo olwa leero.
Abasiimye olw’okuvaayo okunyweza ennono n’obuwangwa nabasaba eno okugisiga mu baana abato era nasaba babasomese n’okubateekateeka ku lw’ ebiseera bya Buganda ey’enkya.
Katikiro webyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu abeebaziza okumanya ennono yabwe ate nebagituukiriza era nabakubiriza okuba abakozi.
Abasabye okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka kibayambe okulwanyisa obwavu.
Eyakulembeddemu ekibinja kino era Omwami wa Kabaka ow’eggombolola eno Edward Musooka aloopye embuga ebimu ku bibasoomoza omuli obwavu n’ekibbattaka wabula nategeeza nti bino tebigenda kubaggya ku mulamwa gwa buweereza.
Amakula agaleeteddwa mubaddemu Sseddume w’ente, embuzi, enkoko emmere , ebibala nebintu ebirala bingi.