Bya Ssemakula John
Buweekula
Minisita Ssekabembe alabudde abantu abatandise okutulakutulamu essaza lino nga bayitira mukusiga enjawukana mu mawanga n’abasaba okukikomya.

Bino Ssekabembe abyogeredde mu ssaza ly’e Buweekula bw’abadde asisinkanye abavubuka, ow’essaza wamu n’abataka b’ekitundu mu kaweefube gw’aliko ow’okulambika n’okusitula abavubuka mu Masaza ga Buganda.
“Kyendabye wano ekikulu olwaleero, nsanze abantu abatandise okwagala okutulakutula essaza lino ku musingi ogw’amawanga naye njagala okusinziira wano okusaba abavubuka okwenyigira mu pulojekiti ezibazimba,” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Minisita Ssekabembe asabye abantu mu kitundu kino okusigala nga bali omuntu omu si nsonga oba waliwo ebyasoba mu byafaayo oba nedda, kubanga si buvunaanyizibwa bwabwe ng’abavubuka okubisinziirako okwekutulamu.
Owek. Ssekabembe okulabula kiddiridde ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende, Amooti Kibuuka, okumuloopera abantu abeefunyiridde okuwubisa abantu nti essaza lino ligenda kuddira Bunyoro akedde konna.
Ono abavubuka abalagidde batandike Pulojekiti ez’enjawulo mwe basobola okuggya ssente era bateekewo obukulembeze ku mitendera gyonna kuba mu bano mwe balonda abatuula ku Lukiiko lwa Buganda Youth Council.
Owek. Ssekabembe bano abakubirizza okutandika ebibiina ebisizi by’ensimbi era basikangane ku mikono, bakulaakulane nga bwe kiragiddwa mu nnambika y’Obwakabaka ey’abavubuka.
Minisita abasabye okujjumbira nteekateeka za gavumenti n’Obwakabaka basobole okuzeenyigiramu.
Omukungu Hassan Kiyemba asabye abavubuka okukomya okwetundako ettaka nga baddukira mu bibuga naye balikozese okukyusa obulamu bwabwe.
Ssentebe w’abavubuka mu Buweekula, akuutidde abavubuka okwongera okukola ennyo era n’asaba Minisita Ssekabembe abayambe abafunire abavugirizi,babayambe okuzimba ekisaawe ekinaayimusa ebitone by’abavubuka mu kitundu kino.









