
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omukise w’Abavubuka mu lukiiko lwa Buganda Owek Rashid Lukwago alabudde abavubuka bakomye okwagala ebyamangu olwo lwebanaatuuka ku ddene n’okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe era obulamu bubanguyire.
Obubaka buno Lukwago abuwadde asisinkanye abavubuka abeegattira mu Akeezimbira wonna mu ggwanga mu lukiiko lwabwe olubadde lumalako omwaka n’okukuba ttooci mwebyo byebasobodde okutuukako wamu neebyo byebategese okukola.
Owek. Lukwago abavubuka abasabye okukolera buli kimu mu budde bwakyo era bakimanye nti beebayimiridde eggwanga ne Buganda ey’enkya ate nga ne Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Omulembe gwe yagukwasa bbo bwatyo naabasaba okubatakola biweebuula kitiibwa ekyo.
Ono era akubirizza abavubuka okwongera okulengerera ewala okwekulaakulanya kyokka n’abasaba okutambulira ku mulamwa gw’ekibiina kino.
Akubiriza Ppulogulaamu Akeezimbira era omukozi wa Leediyo ya CBS, Omw. Ssali Damascus yeebaziza abavubuka olw’okubeera obumu ate nebatandikawo ebintu ebibakulaakulanya naabasaba batambulire awo okutumbula embeera zaabwe.
Omukubiriza w’olukiiko lw’ Akeezimbira Mutaasa Micheal Lubega ategeezezzanga bwebongedde ku bungi bwa bammemba bano era nga kino kivudde mu nteekateeka y’okukunga abavubuka okuva mu masaza ag’enjawulo okubettanira batambulire wamu.
Mungeri yeemu era ayanjudde entekateka z’ebalina gamba nga okungaanya ensimbi eri buli muvubuka eyeetaba mu Pulogulaamu y’Akeezimbira okubaako omutemwa gwawayo okulaakulanya ekibiina kino n’okwanguya emirimu.
Ssentebe wa Akeezimbira Kabito Joseph mu kwogerako gyebali yeebazizza bammemba olwamaanyi gebatademu okulaba ng’ ekibiina kino kigenda mu maaso era yeeyamye okwongera okubangula abavubuka ku nsonga ez’enjawulo.









