
Bya Ssemakula John
Kibuye – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era avunaanyizibwa ku Nzirukanya y’emirimu ne Tekinologiya, Owek. Hajji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo atendereza obuweereza bwa Omuk. Dr. Sarah Nakatudde Nkonge obulabikira mu bitongole ebingi ebyenjawulo byawererezaamu mu Bwakabaka.
Bino bibadde ku Keleziya ya St. Agnes e Kibuye Makindye mu kusabira omugenzi Ritah Pauline Namirembe muwala wa Dr. Sarah Nkonge eyafudde ekikutuko.
Owek. Kaawaase ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omukozi nnyo era ayagala ennyo ensi ye Buganda ne Kabaka we.

Ekitambiro kino kikulembeddwamu Rev. Fr. Joseph Lugobe era kyetabiddwako Minisita Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Owek. Jane Francis Lukwago, Owek. Godfrey Nviiri, Owek. Kajubi Sepuya n’abakulu bangi Omuli Sentebe wa Boodi y’Ekikula ky’Abantu Omuk. Fatuma Nakkazi ne Ssentebe w’Olukiiko lw’Abakyala mu Buganda Omuzaana Agnes Kimbugwe.
Mu ngeri yeemu wategekeddwawo missa ku ssaawa emu (7:00pm) n’okusaba kw’Abakristayo ku ssaawa bbiri (8:00pm) leero 6/2/2024 mu maka ga Dr. Sarah Nkonge Muwonge e Kajjansi okwongera okusabira omwoyo gw’omugenzi.
Kinajjukirwa nti Omugenzi wa kuziikibwa ku Lwokusatu nga 7/2/2024 e Kiwangala Masaka ssaawa munaana (2:00pm) era omukolo gwakutandika nekitambiro ky’Emmisa ku ssaawa 4 ez’okumakya.









