Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Minisita avunaanyizibwa ku by’ensimbi, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akunze abantu bonna gyebali okwettanira omwoleso gwa CBS -PEWOSA kibayambe okwongera omutindo kwebyo byebakola nga bayita mu kugabana amagezi.
Okulambika kuno Owek. Waggwa akuweeredde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde aggulawo omwoleso gwa CBS-PEWOSA ogw’omwaka 2022 ku Lwokuna.
“Mu mwoleso guno ndabidde ddala nti omuntu bwakeera kumakya nagamba nti tamanyi kyagenda kukola era talina kyagenda kukola okufuna ensimbi aba alimba, aba munafu. Bw’olambula omwoleso guno oddayo eby’okukola bikuyitiriddeko. Ebimu tebyetaaga nansimbi nnyingi,” Minisita Nsibirwa bw’ategeezezza.
Ono asabye abantu ba Ssaabasajja yonna gyebali okujja mu mwoleso guno basobole okuyiga, bamanye era bategeere nga balaba kwabo abakoze nebayitamu era nabasaba obutaleekayo baana naddala mu biseera bino eby’oluwummula.
Abantu abasabye okukomya okwekwasa ensonga naye batandike n’ekitono kyebalina okusobola okulwanyisa obwavu.
Owek. Nsibirwa yeebazizza abo bonna abazze mu mwoleso guno nategeeza nti abantu bwe bettanira enteekateeka eno kizzaamu amaanyi kuba wabaawo enkulaakulana mu kifo ky’okudda mu kwekubagiza buli kaseera.
Ate ye Ssentebe wa bboodi ya CBS PEWOSA Omuk. David Balaka ategeezeza nti omwoleso guno gugendereddwamu kuyambako abantu kwebbulula mu mbeera embi eyaleetebwa omuggalo bwatyo nabasaba okugwettanira.
Akulira leediyo ya CBS Omuk. Micheal Kawooya Mwebe annyonyodde nti ssaabasajja yasiima okutandikawo CBS- PEWOSA ng’ erimu ku makubo ag’okutumbula embeera z’abantu mu byenfuna basobole okulwanyisa obwavu.
Omwogezi w’ekibiina ekitaba abasuubuzi ekya KACITA Hajji Issa Ssekitto agambye nti omwoleso guno tewali munnamakolera naddala atandika yandigusubiddwa kuba eby’okuyiga bye basobola okwekwatako nebayitimuka.
Omwoleso guno gutandise ku Lwokuna nga gugenda kuggwa ku Mmande.