
Bya Ssemakula John
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abafumbo buli omu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu maka.
Bino abyogeredde mu lutikko e Namirembe, akulira essomero lya Mengo SS Mw. Grace Nantagya Ssebanakitta bw’abadde ajaguza emyaka 25 mu bufumbo ne mukyala we Irene Nampeera Nantagya .
Owek. Nsibirwa bano abeebazizza olw’okukuumagana ebbanga lino lyonna era abaagaliza Katonda okwongera okubagabirira abaawe obulamu obulungi. Yebazizza Omw. Nantagya olw’okuwagiranga emirimu gy’Obwakabaka n’egyekkanisa, ate n’olwokugunjula abaana b’Eggwanga.
Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Wilberforce Kityo Luwalira y’akulembeddemu okusaba kuno, asiimye abajaguza olw’okusalawo okwebaza Katonda abayisiza mu myaka 25, ng’agamba nti obufumbo kirabo ekiva ewa Katonda era ssi bwakugezaako bugeza wabula abuyingiddemu alina okwesiga Katonda amuwanguze.
Okusaba kwetabiddwamu Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Waggwa Serwanga Ssaalongo, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda eyawummula Owek. Nelson Kawalya n’abantu abalala.









