Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku Mazzi, Bulungibwansi ne Bulungibwansi mu Bwakabaka, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo asisinkanye abakulembeze b’Abakyala n’Abaana okuva mu masaza ga Buganda naabasaba okubeera abayiiya.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era wano Minisita Nkalubo abakulembeze bano abeebazizza olw’ebyo bye basobodde okukola omwaka guno .
Minisita Nkalubo akubirizza abakyala okubeera abayiiya, wakati mu kusoomozebwa okwenjawulo naddala okw’ensimbi bateme empenda okulaba nti emirimu gitambuzibwa mu ngeri entuufu.
Owek. Nkalubo era asabye abakulembeze bano okuteekateeka obulungi bye babeera banaakola mu mwaka, ate bafeeyo obituukiriza obulungi nga balondoola ne bye bakoze bwe bigasiza abantu.
Ono agasseeko nti mu bitegekeddwa okukolebwa bwe wabaawo ekitatuukiriziddwa, kikulu nnyo obutakisuula wabula okukifunira obudde obulala nakyo kiggusibwe.
Minisita abasabye okuzuula obunafu n’emikisa gyabwe babiggyemu omugaso naasuubiza nti Obwakabaka bwakugenda mu maaso n’okuwagira emirimu egikolebwa abakyala okulaba nga ekifaananyi kyabwe kyongera okusituka naddala mu byenjigiriza, ebyenfuna, n’obutebenkenvu mu maka.
n’abakubiriza bulijjo okugobereranga ennambika y’Obwakabaka nga buli kye bakola kisimbye mu Nnamutayiika w’Obwakabaka n’enteekateeka ez’enjawulo ezirambikibwa Gavumenti ya Nnyinimu.
Bamwanjulidde alipoota z’omwaka guno 2024, ku bikoleddwa ku nsonga z’Abakyala n’Abaana mu Masaza gaabwe ne bamutegeeza n’ebimu kw’ebyo bye baluubirira okukola omwaka ogujja.
Abakyala baweze okugenda mu maaso n’enteekateeka ya “Amaka Amalungi Akaalo Amatendo” omwaka ogujja, okunyweza obukulembeze bw’Abakyala n’Abaana okutuukira ddala ku byalo n’okukola emisomo wamu n’enkulaakulana mu bakyala n’abaana mu masaza.