Bya Musasi Waffe
Bugerere
Minisita avunaanyizibwa ku bulimi, obulunzi n’obutonde bwensi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nasejje awadde abantu ba Kabaka amagezi obulimi bw’emmwaanyi babugatteko obulunzi kuba eno y’engeri yokka esoboka okubaganyula.
Amagezi gano, Owek. Nkalubo akukoze aggulawo omusomo gw’abalimi b’emmwaanyi mu ssaza ly’e Bugerere oguyindide ku mbuga ye ggombolola Musaale e Kangulumira.
Minisita annyonnyodde nti singa abalimi bano balima nga bwebalunda tewajja kubaawo bwetaavu kugula bigimusa okusobola okuliikiriza ettaka basobole okuganyulwamu.
Omusomo guno gukulungudde ennaku 5 nga gutambuziddwa mu ggombolola ez’enjawulo mu ssaza lye Bugerere okubangula abantu ba Ssaabasajja ku bulimi n’obulunzi ku kirime ky’emmwannyi okusobola okweggya mu bwavu.
Owek. Mayanja abakubiriza okulima n’ebirime ebirala nga beyambisa ennima ey’omutindo okufuna ensimbi ate n’emmere emala.
Abamu ku bannamukago abeetabye mu nteekateeka eno aba Nkumbi Terimba Ltd. nga bakuliddwamu Ssenkulu wabwe Kironde awadde amagezi abalimi b’emwaannyi okufaayo okuzirabirira n’okukuuma omutindo gwazo okusobola okufuna akatale.
Omumyuka Asooka owa Mugerere Hajji Bashir Ziraba Kawanguzi yakunze Obwakabaka n’abakulembeze okusimbira ekkuuli etteeka lye mwannyi eryagala okuleteebwa kubanga lirinyirira eddembe ly’omulimi.
Bino webijjidde nga abalimi b’Emmwaanyi mu ggwanga bakyatabudde oluvannyuma lwa gavumenti okukola endagaano ne kampuni ya Vinci negiwa obuvunaanyizibwa ku kutunda n’okugula emmwaanyi mu ggwanga ekintu ekireetedde abalimi n’abakulembeze okusaba endagaano eno esazibwemu.