
Bya Ssemakula John
Kampala
Bannayuganda basabiddwa okudduukirira abaana abatawanyizibwa obulwadde bw’omutima nabo okutaasa obulamu bwabwe obutalumbibwa bulwadde bwa mutima kuba buno bwabulindo okujjanjaba.
Obubaka buno bubaweereddwa akulira ekitongole ki Healthy Heart Foundation, Owek. Ritah Namyalo, bwabadde akwasibwa obukadde 5 okuva ku Kabojja International School ziyambeko mu kulongoosa abaana abalina obulwadde bw’omutima.
Owek. Namyalo agamba nti okusinziira ku bibalo abaana akakadde kamu n’emitwalo 6 abazaalibwa buli mwaka kubaako ekitundu 1 ku buli 100 (1%) bazaalibwa n’obuzibu ku mutima era nga bano be baana 16000.

Ono alaze nti ekitundu ku bano babeera beetaaga obujjanjabi nga okulongoosebwa mu bwangu okusobola okutaasa obulamu bwabwe ng’obudde bukyali.
Owek. Namyalo agamba nti ku mbeera y’ebyenfuna eri mu ggwanga abazadde bangi beesanga nga tebalina nsimbi zeetaaga kulongoosa baana babwe ng’eno y’ensonga lwaki yatandika ekitongole kino okubakwasizaako.
Omuyima w’ekibiina ki Interact Club ku ssomero lino, Ronald Musaasizi annyonyodde nti kino bakikoze okusiga mu bayizi ensigo eyokuyamba abeetaga okubeerwa n’okubeera n’omutima ogulumirirwa.
Bano era bawaddeyo ebikozesebwa abakyala mu kuzaala mu ddwaliro lye Nsambya okuyambako ba maama abatasobola kubyetuusaako okubanguyiza obulamu.