
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule aguddewo ekisulo ekisulwamu abayizi ba Mengo Senior School ekituumiddwa ‘The Royal Boys Hostel’ naakuutira abantu bulijjo okubeera abayiiya.
Omukolo guno agukoledde Mmengo ku Lwomukaaga era ng’ ekisulo kino kigenda kuddukanyizibw Omulangira Tonny Wasajja, omuwereza mu Minisitule ya Bulungibwansi, Butondebwansi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka.
Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule atendereza Omulangira Wasajja okubera omuyiiya ku myaka gy’ emito nga asobola okutuukiriza ekirooto kye eky’okuggulawo ekissulo ky’abayizi kyagamba nti kigenda kuvaamu abantu ab’obuvunaanyizibwa mu ggwanga lino.
Owek. Mugumbule amwebazizza olw’enteekateeka zonna zakoze mu kifo kino naddala okulabirira abaana abato.
Sipiika Mugumbule yeebazizza nnyo abazadde b’abaana abasulamu kubanga bawagidde nnyo okubeerawo kw’ekisulo kino.
Minisita w’Amawulire n’ Okukunga
Owek. Kazibwe akubirizza abayizi okwagala ennyo Obwakabaka wakati mu buli mbeera ejjawo.
Ye Omulangira Wasajja agamba nti omwana omulenzi alekeddwawo nnyo y’ ensonga lwaki yavaayo n’ekirowoozo eky’okutandikawo ekisulo kino nga alubirira okulaba ng’ omwana omulenzi ayiga emirimu omuli okufumba emmere awaka, okuyonja enyumba n’ebirala.
Ku lwabazadde, Muky. Nabbanja Deborah nga mukozi mu UGAFODE Microfinance ategeezezza Sipiika Mugumbule nga Omulangira Wasajja bw’ayagala abaana babwe nga ab’oluganda nga abeera wo nnyo mu mbeera zabwe ku ssomero.
Akubiriza abaana okwegomba abantu abalina ensa mu ggwanga kibayambeko okwewa ebbanja mu bulamu.









