Bya Ssemakula John
Luweero
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba asabye bannaluweero okukomya okusuubiriza mu gavumenti kuba olwamala okutuukiriza ebyayo ng’olutalo lwa 1986 luweddde n’ebasuulawo.
Obubaka buno Mpuuga yabwogeredde mu kuziika Jjajja w’omubaka wa Baamunaanika, Robert Ssekitooleko mu Luweero.
“Mukomye okusaba obuyambi okuva mu balwanyi abaali mu kitundu kino ne balya buli kimu omwali n’ebikoola by’emiti. Mukomye okwebuuza gye baabulira. Temubasuubira kudda gye muli. Mutandike bupya okuzimba ekitundu kyammwe, tebasobola kubajjukira.” Owek. Mpuuga bwe yannyonnyodde.
Okusinziira ku Mpuuga, tekiraga buntu bulamu abalwanyi okwerabira abantu b’e Luweero ne bagaana okubatuusaako enkulaakulana wadde okuzzaawo ebyo bye bayonoona nga balwanirayo olutalo lw’ekiyeekera.
Mpuuga asabye abantu b’e Baamunaanika n’e Luweero yonna okutwaliza awamu okwegatta ku kibiina kya NUP kuba kye kigenda okuteekawo obwenkanya.
“Tulina okulwanirira ebiseera by’abaana baffe eby’omu maaso. Temutya kuyimirira ku mazima kuba ne bwotya era ojja kufa.” Mpuuga bwe yalambuludde.