Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba alambudde omwoleso gwa cbs pewosa Nsindikanjake oguyindira e Masaka mu Buddu, nákubiriza abantu okufuula obulimi omulimu ogwénkizo.
Owek. Mpuuga ategeezezza nti omulamwa gwa PEWOSA gwakulaakulanya bantu awamu n’okubaggya mu bwavu bwatyo nabakubiriza okweyuna omwoleso guno webaba bakufuna obugagga obwensibo.
Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako e Ssaza Buddu Pookino Jude Muleke asanyukidde abantu naddala abolesezza eby’obulimi.
Ekirime ky’emwanyi kisomeseddwa era abantu nebakubirizibwa okunywa kaawa nga kino kijja kutumbula ebbeeyi y’emwanyi, nga nabatunda emmere yebisolo nenkoko nabo tebalutumiddwa mwana.
Bbo abeetaabye mu mwoleso guno olwaleero bebazizza Ssaabasajja Kabaka okubatandikirawo radio ya CBS eyavaamu CBS Pewosa.