Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asisinkanye abakungu b’ekitongole ki National Indentification and Registration Authority (NIRA), Rosemary Kisembo okusala amagezi ku nteekateeka z’okuwandiisa abantu ezigenda okuddamu okubaawo mu 2023/2024.
“Ekya NIRA okuwandiisa abantu si nteekateeka mpya naye ekirina okukolebwa kwekulaga abantu emiganyulo, abantu bakitegeere. Bwemunaaba muziddwa buggya era n’enkola yammwe neyanguwa, kijja kuyamba okusikiriza abantu okwewandiisa,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono ategeezezza nti enteekateeka eno agiwagira era y’omu ku basooka okwewandiisa nasuubiza okukolagana awamu naba okutwala ensonga eno mu maaso.
Owek. Mayiga abasabye batuukirire abantu babasomese kuba kizuuliddwa nti abantu tebatera kujjumbira nteekateeka nga tebagitegedde.
Ye Ssenkulu wa NIRA, Kisembo ategeezezza nti obuvunaanyizibwa bwabwe kwekuwandiisa bannayuganda okugaba Satifikeeti z’obuzaale nezo eziraba nti abantu abafudde awamu nokuwa abantu endagamuntu.
Ono agamba nti bakawandiisa bannayuganda abawera obukadde 26 n’emitwalo 80 nebaweebwa NIN nga ku bano obukadde 19 babawadde endagamuntu ate obukadde 17 bwebukyasigaddeyo okuwandiisibwa.
Ono agamba nti ekibareese kwekumanya ekyo ekikuumye Buganda okumala emyaka 800 n’okutuuka kat inga walina okubaawo ekyama nga kino kyebagadde okumanya kuba ekiragiro kya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka abantu bakiwulira.
Ono alaze nti balina enteekateeka okuddamu okuwandiisa abantu abawera obukadde 15 n’emitwalo 80 abafuna endagamuntu mu 2023/2024 nga zino zigenda kuba ziweddeko kuba bazifuna mu 2014, bano era bagenda kuwandiisa abantu abawera obukadde 17 n’emitwalo 20 abatalina ndagamuntu mu kiseera kino.
Agamba nti wadde waliwo ebibadde bisoba mu myaka 10 gyebamaze naye kivudde ku Tekinologiya oluusi eyecanga.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire, Noah Kiyimba ategeezezza nti bakutambuliza wamu enjiri y’okwewandiisa kuba nkulu nnyo naddala kati ng’ensi yekutte ku Tekinologiya okutambuza ensonga ez’enjawulo.
Ensisinkano eno yeetabiddwako Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika, abakungu ba Buganda awamu n’abakungu okuva mu kitongole ki NIRA