Bya Ssemakula John
Buziga – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga, alaze obwetaavu bw’okusiga ensimbi mu masomero okusobola okufuna ebiseera by’omu maaso ebirungi
Okusaba kuno Owek. Mayiga abyogeredde ku ssomero lya Kabojja International School e Buziga bw’abadde alambula essomero ly’omumyuka wa Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa ne Sam Turya.
Katikkiro alaze obukulu obuli mu kusiga ensimbi mu byenjigiriza kubanga kino kimu kubisobola okutaasa eggwanga eryenkya nga .
Owek. Mayiga asinzidde eno naalaga obwetaavu bw’okugunjula abaana nga balina obwesimbu wakati mukugondera amateeka nga batandikira mu masomero .
Ono yeebaziza abatandisi b’essomero lino olw’okussaawo omutindo omulungi wakati mu kuwa abaana ebyenjigiriza ebitambulira ku mutindo n’enkulaakulana y’ensi yonna.
Owek. Hajji Ahmaed Lwasa yebazizza nnyo abantu abawangaalira mu kitundu kino essomero weriri olw’omukwano gwe babalaze kuba bano singa tebakkiriza osanga essomero lino teryandibaddewo.
Mu kulambula kuno Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako omumyuka we owokubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita wekikula kyabantu akwatibwako obutereevu ebyenjigiriza, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Owek. Noah Kiyimba, Owek. David Kyewalabye Male, Owek. Hajji Amis Kakomo nabakungu okuva mu gavumenti ya Beene.