Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asabye abatwala eby’okwerinda mubitundu ebirimu ennyanja okubeeramu ak’obuntu nga bakola omulimu gwabwe.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abutisse Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke amukiikiridde okutikkula aba Ssese oluwalo lwa bukadde 9 okuva mu ggombolola ya Mumyuka Bujjumba, Ssaabagabo Kyamuswa, Ssaabawali Bufumira, Mutuba I Mazinga, Mutuba II Kalangala, ne Ssaabaddu Mugoye ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
Owek. Mayiga agamba nti abakuumaddembe basaanye okulamula aba Ssese n’obwenkanya bwebaba nga bakola ogwabwe gw’okukwasissa amateeka ku nnyanja so si kukozesa obukambwe obusiikiridde.
Ono era alabudde aba Ssese ku kawuka ka Mukenenya nti wadde kongedde okukendeera naye basaanye okusigala obulindaala nga bakozesa amakubo ag’enjawulo omuli obupiira n’okunywerera ku baagalwa baabwe.
Ku lulwe Minisita Kazibwe aba Ssese abakunze okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka omuli ez’ebyobulamu , ebyenjigiriza, emmwaanyi Terimba n’endala okusobola okutumbula embeera zabwe abaana babwe basobole okufuna ebiseera by’omu maaso ebirungi.
Bano abalabudde ku bavubuka abeesomye okuvvoola Nnamulondo nga bayita ku mitambagano naye nga amakanda bagasimbye mu bitundu byabwe naabasaba babateekeko omukono ogwamaanyi baleme kwongera kusiiwuka mpisa.
Owek. Kazibwe abeebazizza olw’okukiika embuga era n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza aba Ssese bano era olwokubeera abawulize eri Nnamulondo.
Owek. Kawuki akubirizza Abaami ba Kabaka okulambika bannabwe ab’emiruka kiyambeko mukutuusa obulungi emirimu gy’embuga nokutuusa obuweereza mu bantu.
Omumyuka wa Kweba Asooka, Namubiru Susana Kaweesa, alaze okutya olw’obukambwe obususse okukozesebwa ab’ebyokwerinda nebalemesa abavubi okukola omulimu gwabwe awamu n’ekizibu ky’ ekibbattaka ekiri ewaabwe.