
Bya Francis Ndugwa
Masaka – Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abavubuka mu Buganda okwerwanako ku kusomoozebwa okw’enjawulo okuboolekedde, bakomye okulowoolereza mu kuweebwa buli kadde bweba baagala okulaakulana.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga abadde aggalawo omusomo gw’ Abavubuka mu Buganda ogumaze ennaku satu nnamba nga guyindira ku Maria Flo Hotel mu kibuga Masaka.
” Njagala okubiriza abavubuka ba Buganda okwerwanako, twagala mweggyemu endowooza y’okugabirirwa, okuddukirirwa, okuyambibwa, okuweebwa, okuyambibwa, gavumenti jjangu otuyambe! Kambabuulire, omuvubuka anakulaakulana yeerandiza yekka nga ajjukira nti emyaka egy’obuvubuka ly’ etterekero ly’obulamu obw’omu maaso,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga bano abawadde amagezi okukola byebakola n’amaanyi wakati mu buyiiya n’obwerufu kibayambe okulaakulakulanya nawera okwongera okubateekateeka basobole okutwala obuvunaanyizibwa obw’enjawulo era basobole okukozesa emikisa egy’enjawulo awatali kulindikiriza.
Abasabye okubeera abavumu era nakowoola abalina okusobozi okuyambako Minisitule y’Abavubuka mukutendeka abavubuka okufuna obukugu obw’enjawulo era babayambe okutandikawo emirimu era babayambe okulengera emikisa n’okubawa obuvumu okusobola okukozesa enteekateeka ezisobola okukyuusa obulamu bwabwe.
Ye Minisita avunanyizibwa obutereevu ku bavubuka n’Okwewummuzaamu, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe, asabye abavubuka abatetabye mu lukungaana luno bagoberere ebivudde mu lusirika luno awatali kwekuluntaza era babikolereko.

Amyuka Ppookino Muwalimu Kato Abdallah Kalule, ategeezezza Katikkiro nti newankubadde nga waliwo ebyogerwa, abantu mu Buddu bongedde okulima emmwaanyi.
Ssentebe w’ Abavubuka, Ssejjengo Baker, yeebazizza Katikkiro olw’okubawa omusingi omulungi ng’ abavubuka kyokka nakubiriza abavubuka okulima emmwaanyi basobole okwekulaakulanya.
Olusirika luno lwetabiddwamu abakulembeze b’Abavubuka mu Bwakabaka nabatali nga bano basomeseddwa ebikwata ku nsonga ez’enjawulo omuli n’ebyenfuna okutereka, engeri entuufu eyokukozesaamu tekinologiya n’okuzza Buganda ku ntikko awamu n’ebirala.

Bano baliko ebiteeso 9 byebayisiza awatali kwekutulamu okuli Okwaniiriza Ennambika y’ Abavubuka mu Buganda, Okutandikawo ebibiina by’obweggasi ebitaba abavubuka, Okuzimba abavubuka okuva ku byalo okutuukira ddala ku masaza, okwettanira okukozesa omutimbagano mu ngeri entuufu nebirala.









