Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu naddala abakulembeze okukomya okukaaba ebizibu kuba bino bibalemesa okugenda mu maaso nebadda mu kwekubagiza nabasaba basitukiremu okubisalira amagezi mu buli ngeri esoboka.
Bino abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo olusobye mu buakdde 17 okuva mu Banna ssingo n’ekitongole kya bavubuka mu ssaza lye Butambala nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Musa Lubega .
“Saagala byakwekwasa, bwoba onoonya bizibu ojja kubiraba mu buli mbeera mw’oli. Saagala nnyo bantu basoosoowaza bizibu kuba tewali atabirina, olina ku mbuulirira bwotambuza eggombola, empenda z’otema okuyita mu bizibu, omukyala akubuulidde atuuka ku bantu nababuulira Oluwalo nga tebamanyi kyebitegeeza naye tazze ngalo nsa,” Owek. Mayiga.
Ono annyonnyodde nti omulembe Omutebi tegwagala kwekubagiza nakuyimba bizibu naye ekikulu kumanya bwetugenda mu maaso mu bukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka.
Owek. Mayiga agamba nti Buganda eyolekedde okudda ku ntikko kuba Kabaka bwayogera abantu bawulira era nabakungu be bwebabakowoola babanukula olwo ebintu nebitambula bulungi.
Kamalabyonna ategeezezza nti Kabaka Mutebi wa byafaayo nga ataddewo ebintu ebyafaayo nga bajjajjabe bwataddewo ebintu ebyenkizo era nakulemberamu okuzzaawo ebya Buganda ebyali biyiise nga akubiriza abantu okulima emmwaanyi bagobe obwavu, okwetangira Mukenenya babeere balamu awamu n’ enteekateeka endala.
Ono era yeebazizza abo bonna abeetaba mu misinde gy’Amazaalibwa era nakunga abantu ba Buganda okuwagira kampuni ya Airtel kuba eyambye nnyo okuvujjirira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo.
Ate Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki yebaziza abantu ba Ssaabasajja abakiise embuga olw’okufaayo okumanya ennono zaabwe ate nebazituukiriza nabakubiriza nga bakola okukulembeza obumalirivu n’obwerufu.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Ssingo, Mukwenda David Nantaja, aloopye embuga abantu ba Ssaabasajja abawaddeyo ettaka kuzimbibweko embuga okwongera okunnyika emirimu gy’Obwakabaka mu bantu.
Eggombolola ezikiise kubaddeko Mutuba 4 Ntwetwe , Mutuba 15 Kyankwanzi ,Mutuba 10 Watuba , ssaabaddu Ngando nendala era abaami ba ssaabasajja abamukulembererako eggombolola zino bawozeza olutabaalo omuli ebituukiddwako nebisoomozo kyokka nebawera okuweereza Ssaabasajja awatali kumutiiririra.