
Bya Ronald Mukasa
Bbunga – Kampala
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asabye abafumbo okutambuliza obufumbo bwabwe ku bwerufu, obwesigwa, n’obwesimbu era batuukirize obweyamo n’ebiragaano byebakuba nga bagattibwa.
Obubaka buno, Owek. Mayiga abuwadde ku Lwokuna mu kkanisa y’ Abadiventi e Bbunga ku mukolo gw’okugatta Gideon Mayanja ne mwana munne Hanifa Nakku mu bufumbo obutukuvu.
Owek. Mayiga abafumbo bulijjo abasabye okukuliza abaana babwe mu mbeera ez’ekiganda era nga baganda basobole okutegeera ebya Buganda n’okukuuma ennono n’obuwangwa.
Katikkiro akinogaanyizza nti obufumbo okuva edda nedda bwa kitiibwa era nga busaanidde okukwatibwa n’ekitiibwa wakati mukusanganamu ekitiibwa nokuwangana emirembe ssaako nokuwuliziganya bwebuba bwakuwangaala.

Omukolo gw’okugatta abagole bano gukoleddwa akulira ekitongole ky’abavubuka ku lukiiko lwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi mu Uganda, Pr. Ivan Ssebaggala.
Omusumba Ssebaggala abakuutidde okubeera eky’okulabirako mu maka gaabwe, beewale ebireeta entalo nokunenengana.