Bya Ssemakula John
Bbowa – Bulemeezi
Mukuumaddammula Charles Peter Mayiga akubiriza abasomesa okubeera abazadde eri abayizi bebasomesa abateeketeeke bulungi kubanga bebazadde abasookerwako era eggwanga erijja kweriyimiridde.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde Bbowa mu Bulemeezi ku Ssomero lya Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II li Bbowa Vocational Secondary School bwabadde alirambula ku Lwokutaano okulaba emirimu bwegitambula era ayaniriziddwa Minisita w’Ebyenjigiriza, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko ne Kkangaawo Ronald Mulondo n’abakulira essomero lino.
“Omusomesa mpagi nkulu nnyo mu kukulaakulana kw’essomero n’Eggwanga kubanga ebyo by’asiga mu bayizi ne by’abayisaamu bye bivaamu obwesige eri essomero abantu ne bongera okutwalayo abaana era bizimba n’ebiseera by’Eggwanga ebyomumaaso abayizi bwe bavaamu obulungi,” Kamalabyonna Mayiga bw’annyonnyola.
Ow’omumbuga asabye abasomesa okukuuma ekitiibwa Ky’obusomesa era bayigirize abayizi empisa ekitiibwa ky’essomero lya Kabaka kiveeyo bulungi.
Kamalabyona asibiridde abayizi b’essomero lino entanda bwebaba baagala okufuuka ab’omuwendo munsi era abalaze ebintu bina (4) byebeetaaga nga bakula okubeera ab’omugaso omuli ebyenjigiriza, obukugu, obulamu n’obuntubulamu.
Ono abakulira amasomero g’Obwakabaka wonna mu ggwanga abakuutidde okumuuma ekitiibwa Ky’Obwakabaka nga beewala okukola ebikitatana.
Minisita Chotildah Nakate Kikomeko yeebaziza abakulembera essomero olw’omutindo gwebalitaddeko bwatyo nakubiriza abayizi okwekuuma nga bulamu bulungi basobole okugasa ensi.
Ye Omwami wa Kabaka omulamulirako essaza lye Bulemeezi Kkangaawo omulangira Ronald Mulondo ajukizza abasomesa obuvunaanyizibwa bwabwe eri abayizi bwebaba baagala ebiseera byabwe ebyomumaaso bibabeerere bitangaavu n’essomero okuyitimuka.
Akulira Bowa Vocational Secondary School, James Lubowa yeebazizza Kamalabyonna Mayiga olw’okubalambika entakera neyeeyama okukola kyonna okwongera okufuula essomero lino ery’ erinnya mu ggwanga lyonna.