• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Mayiga alabudde, Obutondebwensi bwebufa n’ebyenfuna bifa

Gambuuze by Gambuuze
May 27, 2022
in Amawulire
0 0
0
Owek. Mayiga alabudde, Obutondebwensi bwebufa n’ebyenfuna bifa
0
SHARES
58
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti okusaanawo kw’Obutondebwensi  kyekimu ku bintu ebisobola okuvaako okwonooneka kw’ebyenfuna mu nsi  nasaba abantu okubukwata obutiribiri.

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde aggalawo wiiki y’Obutondebwensi mu Bwakabaka  mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano.

“Obutondebwensi bwebufa ebyenfuna bifa,  emmere ebula, obuwangwa bufa, emiziro egimu egy’ebimera n’ebisolo gijja kuggwerawo ddala kuba  gigenda kuba gibuliddwa wegibeera,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Mayiga alaze nga okusaanawo kw’Obutondebwensi bwekijja kuvaako enjala, endwadde awamu n’okusaabulula obuwangwa ekintu eky’obulabe ennyo.

Ono ategeezezza nti waliwo akakwate wakati w’obutondebwensi n’emmere erimibwa mu ggwanga  nategeeza nti wadde ebyenfuna bibi naye akalembeza akaliwo be bantu okuba nti bakyalina emmere kyokka singa obutondebwensi bwongera okutyoboola nayo ejja kubula.

Owek. Mayiga agamba nti ensi eri  mu kattu olw’ebbeeyi y’ebintu eyeyongera buli lukya nga omukisa gwokka Uganda gwekyalina kwekuba nti ekyalina emmere. Bwatyo asabye bannayuganda okusitukiramu bataase Obutondebw’ensi.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Buganda y’entabiro ya Uganda  n’enkulaakulana naye kino kijja n’okusomoozebwa eri Obutondebwensi kuba bwonoonebwa era y’ensonga lwaki entobazi ezisinze okwonooneka ziri mu Buganda.

Ate Minisita avunaanyizibwa ku butondebwensi mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, alaze Kamalabyonna ebikoleddwa mu Sabiiti eno omubadde emisomo, okusimba emiti awamu n’okulambula egyasimbibwa edda.

Owek. Mayanja ategeezezza nti amateeka agaliwo ensangi zino tegakosa nnyo bantu bonoona butonde nasaba gavumenti eyongere okumyumyulamu oba kisoboka ekkirize Buganda yekuumire ebibira n’entobazi ebiri mu kitundu kino.

Ye eyaliko omumyuka wa Pulezidenti w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi yeebazizza Obwakabaka ku nteekateeka ez’enjawulo ezitasosola mu bantu naye nga ziruubirira okutumbula obulamu bwabwe n’okubakulaakulanya.

Sabiiti eno ebaddemu omwoleso gw’Obutondebwensi era etambulidde wansi w’omulamwa, ‘Obutondebwensi bwa mugaso eri ebitonde’ era Sabiiti eno ejjumbidde abantu mu biti eby’enjawulo.

Share this:

Tags: Buganda KingdomEdward Kiwanuka SsekandiKatikkiro Charles Peter Mayiga
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist