Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abakozi bulijjo okunyweza enkola ey’omulembe omuggya nga batambulira mu bwerufu, obuyiiya, obukozi n’obunyiikivu bw’eba baagala okutwala mu maaso ebitongole bye bakolera nabo okukulaakulana.
Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde mu nsisinkano n’abakozi ba BBS Terefayina mu bimuli bya Bulange ku Lwokuna.
“Temukoowa mirimu, mube banyiikivu mukyali bato bannange, oli mu myaka 20 oba 30 nti okooye okoowa ki, okukola tekutta. Mubeere beerufu, saagala muntu wadde abba akakalaamu, tetwagala babbi, bw’obba eky’abantu bonna ffenna okutukosa ate bwe wabaawo obwerufu ne kye tukung’aanya kiwera mangu.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Mukuumaddamula asabye abakozi bulijjo okukkirizanga okuwabulwa n’okulambikibwa kibayambeko okutuuka ewala era balabe ne kubibala by’ebiruubirirwa.
Abakozi abawadde amagezi abakozi ba Terefayina amagezi okwerinda endwadde zinnamutta n’endala nga COVID-19 okusigala nga balamu era n’abeebaza olw’obuyiiya bwe bagatta mu mirimu, ebyongedde okuyitimusa Terefayina.
Ensisnkano eno yeetabiddwamu ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’amawulire, Owek. Noah Kiyimba era ono yeebazizza abakozi ba Terefayina olw’empeereza ennungi eyambye Terefayina okumanyika n’okuweesa Buganda ekitiibwa.
Ate Ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk. Patrick Ssembajjo ayanjudde ebimu ku bituukiddwako kw’osa n’ebyo ebisuubirwa okukolwa era ategeezezza nti obumu yeemu ku mpagi Terefayina kwe yeesigamye okusobola okutuuka mu kifo ky’erimu.
Akulira entambuza y’emirimu mu Terefayina, Steven Dunstan Busuulwa aweze nti ng’abakulembeze mu kitongole kino baakukolera wamu n’abakozi okulaba nga Terefayina eyongera okugenda mu maaso okutuuuka ku ntikko.
Ku mukolo guno, ekitongole kya BBS Terefayina kisiimye emirimu gya Katikkiro eri Obwakabaka omuli kulambika ebitongole bya Beene ku ntambuza y’emirimu n’ebirala era kimukwasizza ebirabo okumwebaza okubalung’amya obulungi .