Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Katikkkiro Charles Peter Mayiga asabye Abaami ba Kabaka wamu n’ abantu mu Buganda okwekwata obwerufu mu nteekateeka z’Obwakabaka nemu bulamu obwa bulijjo basobole okugenda mu maaso.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abutisse Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, amukiikiridde okutikkula Oluwalo okuva e Ssingo, Buddu ne Busiro ku mukolo oguyindidde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri.
Owek.Mayiga agamba nti singa Abaami ayagala abaami bannyikiza obwerufu kijja kwanguya okutuukiriza enteekateeka z’Obwakabaka okusobozesa Nnamutayiika wa 2023_2028 zituukirire obulungi.
Mu kino ayagala abaami be Ggombolola okutwala obuvunaanyizibwa okutegeeza bannaabwe biki ebivudde mu luwalo lwe bawadde era ba babuulire emirimu egikolebwa okuva mu nsimbi zebawayo mu luwalo.
Kamalabyonna ategeezezza nti ebifudde Buganda ey’amaanyi kwe kusoma entebya eya buli mwaka omuntu wa Kabaka n’amanya ensasaanya bweyimiridde n’ebikoleddwa mu nsimbi ezo eziba ziragiddwa mu ntebya n’ekigendererwa eky’okweyubula okuva mu nkola enkadde ey’emirimu okudda mu mpya etambulira ku tekinologiya omwami wa Kabaka naddala owe Ggombolola mwasaanidde okuyingiriza abavubuka mu mirimu gy’e Ggombolola bamuyambeko mu mirimu egimu naddala egyo egyetaaga obukugu obw’enjawulo.
Ku lulwe, Oweek Kazibwe Kitooke akubirizza abazadde okunnyikiza obuwangwa n’ennono mu maka gaabwe nga bayigiriza abaana olulimi oluganda, ennyambala entuufu, n’empisa z’omubantu.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’ Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki asinzidde wano naasaba abazadde okuteekateeka abaana baabwe mu mpisa bongereze abasomesa webakomye.
Owek. Kawuki azzeemu okusaba abantu ba Kabaka okukozesa obulungi tekinologiya olwo lwe bajja okwanganga obulungi abalabe ba Buganda, n’abakuutira obutaddamu kukkiriza muntu yenna ku bakwata bujega, baveeyo bamwambalire era bamwanike ensi emutegeere nti yoyo obwakabaka.
Mu nteekateeka y’omwaka ogujja ey’oluwalo, Oweek Kawuki ayanjudde enteekateeka ey’okugaba ebirabo eri omuluka n’ekyalo ebinaasinga okuwayo oluwalo.
Abaami ba Ggombolola zino baloopedde Katikkiro engeri gyebatambuzaamu emirimu, ebituukiddwako, ebibasomooza n’engeri y’okubivvuunuka.
Eggombolola ezikiise embuga kuliko; Ssaabagabo Kyannamukaaka, Mumyuka Kalungu (Buddu), Mutuba 1 Bukuya (Ssingo), Ssaabagabo Lufuka, Ssaabawaali Kasanje, Musaale Sisa (Busiro) era bano wamu baleese oluwalo olusobye mu bukadde 91.