
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze b’Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ku buli mutendera okusobola okunyweza enkolagana yaabwe n’abantu.
Bino bibadde mu bubaka bw’awadde Omumyuka we Asooka Owek. Alhaji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo bw’abadde asisinkanye abamu ku bakulembeze b’Abasomaali mu Uganda abazze Embuga nga bakulembeddwa Ssentebe wabwe Omw. Kalif Mohammed.
Bano Katikkiro bamuloopedde ku bizibu
bye bayitamu ebibasoomoza naddala okuwangaala ng’abanoonyi b’obubudamu mubyefuna, ebyobulamu, ebyemizanyo, n’ abavubuka.
Abasomaali bategeezezza Kamalabyonna Mayiga nga bwe waliwo n’abagenderera okubasendasenda okubakukusa mu makubo agatali matuufu.

Basabye okufuna enkolagana ey’enjawulo n’Obwakabaka nga bagamba nti Abasomaali bangi abasize ensimbi mu Uganda era basobolera ddala okukolagana n’Obwakabaka mu nteekateeka zaabwo ez’enjawulo.
Ensisinkano eno abaddemu ne Minisita Owek. Hajat Mariam Nkalubo Mayanja n’abaweereza abalala.