
Bya Samuel Stuart Jjingo
Nabweru – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, akubirizza abayizi ku mitendera gyonna okwagala ensi yabwe Buganda awamu ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi akaseera konna.
Obubaka buno, Minisita Kitooke abuwadde yeetabye ku kabaga akakomekkereza olusoma olusembayo mu mwaka akategekeddwa ku Bat Valley Theatre ak’ essomero lya Glory Nursery & Primary School, Nabweru mu Kyaddondo.
Owek. Kazibwe abayizi abakuutidde bulijjo okumanya ensibuko yabwe era bayige ennono n’obuwangwa olwo ensi ebanguyire.
Abakubirizza okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka era beetabe mu bibiina by’ abayizi a ebiri ku misingi gw’Obwakabaka nga Akeezimbira, Nkobazambogo n’ebirala basobole okuteekebwateekebwa obulungi.
Oweek. Kazibwe asinzidde ku kabaga kano ne yeebaza omutandisi w’essomero lino Muky. Nakangu Justine olw’obutadibya bya buwangwa bya Buganda era kino kizze kyeyolekera mu kutegeka empaka z’obuwangwa n’ennono mu bayizi.

Omutandisi w’essomero lino, Muky. Nakangu Justine asabye abayizi okugondera abakadde era babeere n’empisa mu luwummula luno era ono asuubizza okusigala nga awagira enteekateeka z’Obwakabaka akaseera konna.
Ku kabaga kano abayizi boolesezza ebitone ebyenjawulo omubadde okuyimba, okuzina n’okuzannya Katemba.