
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Kazibwe akunze abalina obukugu obw’enjawulo okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.
Bino, Owek. Kazibwe abyogedde akwasa aba Mulago STI control unit Marpi clinic emijoozi amakumi ataano era bano bakiikiriddwa Mw. Kikomeko Joel okwetaba mu nteekateeka eno.
Akunze abasawo, bannamateeka, ababazi be bitabo, n’abagwa mu biti ebyo okusitukiramu balwanyise akawuka akaleeta mukenenya nga kino balina ku kikola nga bayita mu kudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egiriyo ku Sande eno mu Libiri e Mengo.
Ye Mw. Kikomeko agamba nti kino kye kiseera abantu bajje beekwatiremu bayambe bannaabwe abalina akawuka kubanga obuyambi obuva e bweru wéggwanga tebukyaliwo.
Ono akubirizza abalina akawuka ka mukenenya okweyunira amalwaliro bafune eddagala kubanga gye liri, beewale okuwubisibwa aboogera ebyabwe nti eddagala lyaggwayo.
Baguze obujoozi amakumi ataano (50) nebeeyama okuwagira enteekateeka za Buganda ez’ enjawulo.