
Bya Gerald Mulindwa
Muganzirwazza – Kyaddondo
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki, asabye Abaami ba Kabaka bulijjo okukola emirimu egitambulira ku Nnamutaayiika w’Obwakabaka olwo lwe banaasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’abatumwa Ssaabasajja Kabaka.
Okwogera bino, Owek. Kawuki abadde ku Muganzirwazza mu Kampala mukubangula Abaami b’eggombolola, abamyuka baabwe n’Abalezi mu Masaza, ku ntambuza y’emirimu ku Lwokubiri.
Minisita Kawuki bano abasabye okwetegekera akaseera k’eby’obufuzi akabindabinda wamu n’ okunnyikiza enkola ya Bulungibwansi n’okutuuza enkiiko mu byalo.

Bano era abajjukizza okukunga abantu okwenyigira mu nteekateeka z’okujaguza amazaalibwa ga Beene, era n’abasaba okwongera okusaasaanya amawulire g’okumalawo Mukenenya nga alipoota bweziraga nti azzeemu okweriisa enkuuli mu Buganda naddala mu Masaka, Kalangala ne Kyotera.
Abamu ku Baami b’e ggombolola abeetabye mu nsisinkano eno bagambye nti omusomo guno guboogiwazza era baakuddayo okukwazza emirimu gya Beene awatali kwekwasa.
Okusisinkana Abaami bano kwa makulu ddala kubanga be batambuzibwako enteekateeka ya Luwalo lwaffe, era muno mwebasinziira okutuuka ku bantu ne babakubiriza okuwagira emirimu gy’Obwakabaka era bangi ku bbo bakozesezza omukisa guno okukiika embuga ne beegazaanyiza mu mbuga enkulu ey’obwakabaka anti Omutanda mwali alamula.
