
Bya Ssemakula John
Kasenyi – Busiro
Minisita avunanyizibwa ku by’obulimi, Obulunzi, Obweggasi n’Obuvubi mu Bwakabaka Owek. Hajji Hamis Kakomo Kakomo asabye ab’ebyokwerinda abateekebwa ku nnyanja okulwanyisa envuba embi okukendeeza ku lyanyi n’obukambwe bwebakozesa.
Okwogera bino Minisita Kakomo abadde alambula Abavubi ku mwalo gw’e Kasenyi mu Busiro okulaba embeera mwebakolera n’okubabangula ku bwegassi n’engeri gyebasobola okulongoosaamu omulimu gwabwe.
Owek. Kakomo agamba nti ab’ebyokwerinda bano basobola bulungi okukola omulimu ogwabaweebwa mu bukugu n’okuyambako okusomesa abavubi ku nvuba entuufu mu kifo ky’okubatulugunya.

Minisita era asinzidde wano nabakubiriza okwettanira enkola y’obwegassi kuba ly’ekkubo ly’ enkulaakulana erisobola okubayamba okwegobako obwavu nga bakolera awamu.
Abavubi ku mwalo guno era balambuza Minisita Kakomo omwalo guno era nebamuloopera ebimu ku bizibu byebasanga omuli okutulugunyizibwa abajaasi abateekebwa ku nnyanja okukwasisa ebyenvuba.
Bano bagamba nti nga ojeeko okubatwalako amaato gaabwe nebirala ebbeeyi ebikozesebwa mu mulimu gw’obuvubi eri waggulu nakyo kizibu kyokka nga nebyobulamu bikaabya amaziga.