Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita w’Obulimi ,Obwegassi , Obusuubuzi n’Obuvubi mu Buganda Owek. Hajji Amis Kakomo awadde abantu ba Buganda amagezi okukolera awamu nokwetanira obwegassi nga mukino lwebaggya okusobola okwekulaakulanya ate ne Buganda okugenda mu maaso.
Minisita bino abyogedde bwabadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 25 n’emitwalo 23 okuva mu Bannakyaggwe , Banabuddu ne Bannakyaddondwa ku Lwokubiri mu bimuli bya Bulange e Mmengo mu Kyaddondo.
Owek. Kakomo era afalaasidde abantu ba Ssaabasajja okunnyweza obumu nokukolera awamu beekulakulanye nga bawang’ana amagezi nga kino era Kyakutwala Buganda mu maaso.
Minisita bano abasabye okukola ennyo nokunnyikiza obukozi mu baana era babateeketeeke mu mpisa n’obuwangwa kisobozese ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso okutangaala n’okufuna abantu abalimu ensa.
Abaami abakulembeddemu Eggombolola ezikiise embuga balaze nga bwebasomoozebwa ennyo ekibbattaka mu bitundu byebatwala awamu n’eddagala ly’ ebirime effu eribunye ku katale kyebagamba nti kibafiiriza n’okuboononera ensimbi.
Ye Minisita w’Amawulire , okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek.Israel Kazibwe bano abategeezezza nti Obwakabaka buli mu kaweefube w’okutumbula obulimi nga bino byebimu ku bitunuuliddwa okugonjoolwa okulaba nti omulimi ayogera okufunamu.
Abakiise embuga mubaddemu nabakulembeze mu gavumenti eyawakati era omubaka wa Kalungu West Ssewungu Joseph Gonzaga asabye abantu okumanya nti ebyenjigiriza gwe musingi gwenkulaakulana era naasaba Obwakabaka okubisaako essira .