
Bya Ssemakula John
Kinaawa – Kyengera
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi n’obweggasi, Owek. Hajji Amis Kakomo akubirizza abantu ba Kabaka wonna mu Buganda okwettanira obweggasi kibayambe okwekulaakulanya era bagende mu maaso.
Obubaka buno minisita Kakomo abuweeredde ku mukolo bannakibiina ki Kinakwekulaakulanya kwebabadde bajaguliza omwaka nokukuba ttooci kwebyo byebatuuseeko e Kinaawa – Kyengera mu Busiro.
Owek. Kakomo agamba nti bannansi balina okuwuliriza ekiragiro kya Kabaka ku bweggasi bwebaba baagala okugabana amagezi bakulaakulane era banyweze obumu.

Ono era abakalatidde okwongera okuteleka kwosa nokwewola ssente mu SACCO ate bazikolemu ebintu ebivaamu ensimbi ng’okulima n’okulunda okusobola okwegobako obwavu wabula nabasaba okukulembeze obwesigwa.
Ye omukwanaganya w’obusuubuzi n’Obweggasi mu Bwakabaka bwa Buganda, Wamala Mulindwa akubirizza bammemba okubeera obumu era banyweze ennono y’okutereka nga bwebasiga.
Ssentebe wa SACCO eno, Abdul Sserwadde ategezezza nga bwebalina ekirooto kyokutandikawo banka y’obweggassi eneesobola okuwola bananayuganda n’eggwanga lyonna ku nsimbi entono.
Bbo abeegattira mu Kina SACCO bannyonnyodde nti emyaka 13 gyebamaze nga batereka basobodde okukyusa obulamu bwabwe.