
Bya Ssemakula John
Kisubi – Busiro
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase yeebazizza olw’omulimu ogukoleddwa Owek. Dr. Anthony Wamala okutumbula ettendekero lya Beene erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education.
Obubaka buno, Owek. Kaawaase abuwadde mu kawungeezi ka Mmande bw’abadde mu maka g’Owek. Wamala ku kabaga akaategekeddwa olwa Nnyinimu okumulonda namufuula minisita ow’Obuwangwa, Embiri; Amasiro; Obulambuzi n’Ebyokwerinda.
Owek. Kaawaase, nga yakiikiridde Katikkiro, agambye nti Owek. Wamala addukanyizza bulungi nnyo Buganda Royal, n’agituusa ku mutindo ogwawaggulu kweri, n’amusaba okubagana ebirowoozo ebyo ebirungi ne kkabineeti y’Obwakabaka, okwongera amaanyi amapya mu buweereza.
Amukuutidde okwebuuza ennyo, okuwulirize nnyo, kyokka asengejje bw’awulidde, asobole okuweereza obulungi Obuganda.

Ye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu ppalamenti, Owek. Mathias Mpuuga, ategeezezza nti Owek. Wamala ye muntu ayeewaayo n’obumalirivu okukola, n’amusaba byonna by’akola abikole ku lwa Ssaabasajja Kabaka.
Omugole w’olunaku, Dr. Anthony Wamala, yeebazizza Kabaka olw’okumulengera n’amulonda, era ne yeeyama okuweereza mu bwesimbu, ng’essira agenda kulisookeza ku kumaliriza Amasiro, n’ekkaddiyizo ly’Obwakabaka.
Omukolo guno gwatandise n’ekitambiro ky’ emmisa ekyakulembeddwamu Rev. Fr. Erick Mbaziira, naye eyeebazizza Owek. Wamala, olw’okuweereza Katonda, ate n’okusomesa abaana n’abagunjula.