
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita wa Tekinologiya mu Bwakabaka, Owek. Professor Hajji Twaha Kaawaase Kigongo atongozza olukiiko olugenda okutegeka omukolo gw’ Amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 31.
Bw’abadde atongoza olukiiko luno mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna, Owek. Kaawaase ategeezezza nti gano gakubaawo nga June 31 mu Lutikko e Namirembe.
Owek. Kaawaase annyonnyodde nti gano gatuukidde mukiseera nga Nnyinimu mukosefu bwatyo naasaba abantu okwongera okumusabira asobole okussuuka.
Ono agasseeko nti Amatikkira gano gakukwatibwa wansi w’omulamwa ,”Obumu bwaffe gemaanyi ga Nnamulondo” naasaba abantu okwongera okwefumiintiriza ku bigambo bya Beene.
Prof. Kigongo era asinzidde wano natendereza obukulembeze bwa Beene obujjudde ebibala bukya atuula ku Nnamulondo nagamba nti ebikujjuko by’omulundi guno bijja kukulemberwamu okusaba mu masinzizo gonna olwo entikko ebeere ku lutikko e Namirembe.
Olukiiko olulondeddwa lukulirwa Minsita w’Obuwangwa, Embiri n’ Amasiro, Owek. Anthony Wamala namyukibwa Minisita Israel Kazibwe Kitooke so nga omuwandiisi w’Olukiiko y’Omukungu Josephine Nantege.
Bammemba b’olukiiko luno abalala kuliko Minisita Joseph Kawuki, Minisita Noah Kiyimba, Kaggo Magandaazi Matovu, Omw. Joseph Mugagga ne Capt. Christopher Lutwama.
Ssentebe w’Olukiiko luno, Owek. Anthony Wamala alaze essuubi nti oba olyawo Ssaabasajja anaaba akomyewo ku butaka olunaku lw’okujaguza amatikkira ag’omwaka guno welunatuukira.
Owek. Wamala aweze okukulemberamu enteekateeka zino zonna wakati mukusaba abantu b’Omutanda okusabira Nnyinimu era basigale nga bali bumu akadde konna.









