Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Ssenkulu wa BBS Terefayina omuggya, Eng. Patrick Ssembajjo ng’ali wamu ne banne bwe bakulembera abaweereza ku mitendera gyonna ku BBS Terefayina, ayanjulidde Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w’Obuyiiya n’Enzirukanya y’Emirimu mu Bwakabaka, Assoc. Prof. Owek. Dr. Twaha Kigongo Kaawaase, olukiiko luno olutambuzibwako ensonga mu Terefayina eno.
Bamutegeezezza engeri gye baddukanyaamu emirimu.
Mu kwogera kwe, Owek. Prof. Twaha Kaawaase abategeezezza ebiruubirirwa by’Obwakabaka omuli okutuuka ku ntikko ate naddala mu Ssemasonga eyookuna ey’okukola obutaweera ate nga BBS mw’esimbidde ddala.
Era abalaze amasiga asatu (3) ag’Obwakabaka bwa Buganda okuli; Abalangira n’Abambejja, Abataka, n’Essiga erikulemberwa Katikkiro.
Owek. Kaawaase akiggumizza nti kikulu nnyo omukozi yenna mu Bwakabaka okutegeera ensonga zonna ez’Obwakabaka nga bwe zitambula.
Bano beeyamye nti bagenda kwettanira ettendekero ly’Obwakabaka erisomesa ku bikwata ku Bwakabaka erya Leadership Academy eriri wansi wa Buganda Royal Institute Of Business and Technical Education.
Owek. Prof. Twaha Kaawaase ye Minisita avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka nga ne BBS Terefayina n’ebitongole by’Obwakabaka ebirala, mw’obitwalidde.