Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuuka Asooka owa Katikkiro Owek Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asisinkanye aba kkampuni ya East African Crude oil pipeline abali ku mulimu gw’okutambuza amafuta nga bayita mu mudumu nalaga obukulu bwa Federo mukuyamba ebitundu okwekulaakulanya.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri era asinzidde wano nasaba aba Kampuni eno okwegatta ku Buganda okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe.
“Puloojekiti eno ngisanyukidde bwekizudde nti waliwo ebintu ebiyinza okubanga bitambula mu ngeri ya Federo. Tosobola kungojoola bizibu bye Bunyoro nga oli Buganda, buli kitundu kirina ebintu byaakyo ebyenkizo n’olwekyo buli kitundu kikole ku bintu byaakyo kati ffe wano emiziro gyaffe gikwatagana nnyo ku bisolo n’ebinyonyi n’obutonde bwensi era kitukakatako okumanya bwebayinza okubikuuma,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza.
Owek. Kaawaase agamba nti Buganda Katonda yagiweesa emikono ebiri kuba mu Afirika ne Uganda wonna eri mu makati ng’ enkulaakulana yonna tesobola kwogerwako awatali kukolagana ne Buganda.
Ono annyonnyodde nti enteekateeka eno esimbye bulungi mu kukuuma ennono n’ebintu bya Buganda nebirema okusanyizibwawo nga bwekyali ku muti Nabukalu era balaze enteekateeka zebalina singa basisinkana ebifo by’ennono ebirina okusengulwa.
Owek. Kaawaase asabye abakulu mu kampuni eno okukwatagana n’Obwakabaka okwenyigira mu nteekateeka eziganyulwamu abantu bonna nga okuzimba amalwaliro oba amassomero, naddala mu bitundu gyebanaayisa emidumu gy’amafuta.
Bano azzeemu okubasaba okwongera okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka nga bwe gwali ku mpaka z’ Amasaza namatikira ga 2018.
Amyuka akulira kampuni ya EACOP, John Bosco Abomugisha agamba bakkaanya nekitongole ky’Obwakabaka ki Buganda Land Board era nekibakkiriza okusasula ettaka kwebakolera emirimu era asabye Obwakabaka okubayambako ku kugoba ku kyapa ky’ ettaka lino.
Abomugisha era annyonnyodde kukusoomoza kwebasanga nga bakola omulimu wabula namukakasa nti abantu mu bitundu gyebakolera babaliyilira era abo ababoogerera ebikikinike boogera byabwe.
Minisita w’Ebyettaka mu Bwakabaka Owek David Mpanga nga eyakiikiridde omumyuka owokubiri owa Katikkiro, Owek Robert Waggwa , asabye aba EACOP okufaayo ennyo ku kubeerawo n’obulamu bwabantu nga bakola emirimu gyabwe.