Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Hajji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo alabudde bannayuganda okukomya okutyoboola Obutonde bwensi okusobola okutaasa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso, Uganda ereme kufuuka ddungu.
Okulabula kuno kukoleddwa Owek. Kawaase Kigongo bw’abadde atongoza wiiki ya Bulungibwansi mu ssaza Kyadondo wamu nokusimba ekibira kya Kabaka ku Mmande e Kireka mu Kyaddondo.
Owek. Hajji Twaha Kawaase Kigongo atenderezza enkola ya Bulungibwansi era nasaba abantu ba Buganda okulekera awo okwekubagiza nga bawanjagira gavumenti kubintu ebitono nabo bennyini byebasobola okwekolera nga bayita mu Bulungibwansi.
Emikolo gitandikidde ku ppaaka ya loole e Kireka ng’ eno abantu ba kabaka bakedde kulongoosa kitundu kino okutumbula obuyonjo era Owek. Kaawaase wano asimbyewo omuti ng’ akabonero akakuuma obutonde.
Oluvannyuma abantu ba Kabaka nga bakulembeddwamu Minisita wobutondebwensi Owekitiibwa Mariam Mayanja Nkalubo ne banna Rotary okuva mu matabi agenjawulo bagenze ku Lubiri lwa Kabaka nebasimba emiti okwetoloola Bbugwe w’ olubiri luno.
Entikko y’omukolo guno eyindidde ku ssomero lya SDA primary school erisangibwa e kireka era eno abantu ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo gyebabadde bakungaanidde.
Ku ssomero lino era wasimbiddwawo ekibira kya Kabaka era wano bannakibiina ki Rotary webasinzidde nebasaba abantu bonna okusimba ekibira kya Kabaka mu maka gabwe okusobola okuzzaawo Obutonde.
Minisita w’ obutonde bw’ensi mu Buganda, Mariam Mayanja Nkalubo awanjagidde abantu buli alina kyasobola okukola akikole okutaasa obutonde bwensi kubanga abantu bangi abamaliridde okubusanyawo.
Ye Ssaabawolereza wa Buganda era minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Christopher Bwanika asabye gavumenti okuteeka mu nkola amateeka agabagibwa nga gagendereddwamu kutaasa butonde bwensi.
Bulungi bwansi womwaka guno atambulidde kumulamwa ogugamba nti ‘’Tunyweze enkola ya bulungibwansi okutaasa obutonde bwensi’’ era buli muntu akubiriziddwa ewaka wabeera okufaayo ennyo okubeera nekibira kya kabaka.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka yasiima nti buli Buganda lweba ejjukira ameefuga gaayo yeyambise wiki nnamba okukola Bulungibwansi era kitegeerekese nti wiki wenaggwerako emiti egisoba mu 18000 gimaze okusimbibwa.