
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo agumizza Obuganda ku mbeera ya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nategeeza nti wadde mukosefu naye emirimu gitambula kinawadda.
Obubaka buno Owek. Kaawaase akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga okutikkula Bannasingo ne Bannakyaggwe Oluwalo olusobye mu bukadde 35 ku Lwokubiri.
“Kituufu Ssaabasajja Kabaka mukosefumu naye ali mu mikono emituufu egy’ abasawo. Mwe abazze wano abantu ba Ssaabasajja Kabaka mubagumye nti ebintu bitambula wadde ebisomoozo bibaawo,” Owek. Kaawaase bw’agambye.
Ono ategeezezza nti obwavu, endwadde, amalwaliro omutali ddagala, ebyenjigiriza ebiri ku buseera ne bannabyabufuzi abeeyagaliza bokka wadde omugugu abantu basooka gutunuuliza Gavumenti eyawakati naye bwebamala amaaso bagazza ku Buganda.
Bwekityo asabye abakulembeze bulijjo okukwasizaako Omutanda ku nteekateeka za Buganda nga Emmwaanyi Terimba ezigendereddwamu okulaakulanya abantu be n’okusitula embeera zabwe.
Bannabyabufuzi abakubye akaama okwewala okwawulwa langi n’enzikiriza ez’enjawulo naye babeere bumu okulaba nti batwala Obwakabaka bwa Buganda mu maaso.
Ku lulwe Owek. Kigongo yeebazizza nnyo abazadde ne bananyini masomero olw’okuleeta abaana okukiika embuga, nakunga abaana okunyweza obuwangwa n’ ennono zabwe okusobola okutangaaza emikisa gyabwe egy’omu maaso.

Owek. Kaawaase era akunze bannannyini masomero okwagazisa abaana okwegatta mu bibiina by’Obwakabaka nga Akaliba Akendo Nkoba zambogo nebirala okusobola okubateekateeka obulungi.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka n’ Ensonga za Buganda Ebweru, Owek Joseph Kawuki yeebazizza nnyo Banna Ssingo ne Bannakyagwe olw’okukiika embuga basobole okumanya ebituufu ebikwata ku Bwakabaka ne Beene.
Omumyuka Ow’okubiri owa Mukwenda,
Regina Nasseremba yebazizza Katikkiro olw’obukulembeze obulungi saako nokukiriza buli ssaza okujja nga bweriri embuga kugamba kibayambye nnyo okwenyigira buteerevu mu nsonga z’embuga.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abantu abenjawulo okuli ababaka mulukiiko lw’eggwanga olukulu, ba ssentebe bamagombolola, banna diini, abaana b’amasomero nabantu abalala bangi.









