
Oluvanyuma lw’ebyava mu bigezo bye kibiina eky’omusanvu (PLE) okufulumizibwa Minisitule y’ Ebyenjigiriza ebyo mwaka 2024, Munnabyanjigiriza omukugu era Minisita w’Obwakabaka ow’ebyenjigiriza, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko asonze ku wasinze okuva obuzibu ku mulundi guno abaana nebayita nga bwekitera kubeera.
Minisita awayizzaamu n’Omusasi wa Gambuuze Pauline Nanyonjo naasonga ku kirina okukolebwa.
Ekibuuzo: Owek. Nakate, Kampala yasse mu bayizi abayitira mu ddaala erisooka so nga ebadde yeeriisa nkuli mu myaka egiyise, ggwe ng’omukugu olowooza kiki ekyaviiriddeko embeera eno?
Minisita Nakate : Ebiviirako abayizi obutayita bibeera bingi naye ebimu kubyo ku mulundi guno kuliko ‘Policy’ eragira buli musomesa okubeera ne ddiguli kino, kyakaka abasomesa okuddayo bongere ku bitabo nebalemererwa okuwa abaana obudde. Abayizi abamu bakosebwa obutabanguko obwenjawulo ate abalala bakuzibwa abazadde abapatikana ennyo ng’ ebiseera ebisinga obungi bakeera mu kiro nebalemwa okufuna obudde okumanya abaana babwe kyebaliko.
Owek. Kikomeko era agamba nti enkola y’okusomba abaana abasoma nga bava waka mu matumbi budde nebatambuzibwa engendo empanvu nebalemwa okwebaka ekimala ebakooya era nebaviirako okukola obubi nga bwekityo esaanye etunulwemu.
Ekibuuzo : Abayizi abawera akakadde kalimba bagudde ebibuuzo era tebasobola kweyongera ku mutendera guddako, Owek Nakate olowooza ensonga eno yandikwatidwa etya?
Owek. Kikomeko agamba nti ekigwo ekimu tekirobera mwana kutambula asabye abazadde okuzza abayizi bano mu ssomero era babateekemu amaanyi balabe nti ku luno bayita ebigezo bino basobole okwongerayo.
Ku bayita abatatuula bibuuzo nsaba abakwatibwako obutereevu nga abazadde, bannaddiini ne Gavumenti Eyawakati okulondoola abayizi bano bazzibwe mu ssomero kuba kyabulabe nnyo okwetoloolwa abantu abatasoma. Abalina ku nsimbi balina okukwatirako abatalina kubanga obuzibu buyinza okubeera nti buva ku bbula lya nsimbi ezisasula ebisale.
Waliwo abazadde abalowooza nti omwana bwamalako eky’omusanvu naayiga oluzungu nebwateyongerayo, bano obawa magezi ki?
Minisita Nakate : Abazadde ekika kino, endowooza balina okugikyuusa kubanga ebintu bikyuse. Gavumenti yateekawo enkola ya Bonnabasome ku mutendera gwa siniya kati okugamba nti omwana amukomya mu ky’omusanvu tekikola makulu. Abazadde abo basaanidde bakimanye nti gyotega amaggwa gye gakusanga kuba buli mwana alina omugaso gwalina okuwa eggwanga nga asomye; asobola okubeera omusawo, omupoliisi, makanika oba ekintu ekirala kyonna kati bw’omukomya mu kkubo obeera omukotogedde.
Ekibuuzo : Waliwo disitulikiti ezaakoledde ddala obubi nga Yumbe n’endala, Gavumenti Eyawakati ogigamba ki ku nsonga eno?
Minisita Nakate: Ekisooka kirabise nti abasomesa tebagala kugenda kusomesa mu disitulikiti ziri mu masoso g’ ebyalo, ntebereza nti abasomesa tebabeerayo oba tebaliiyo. Ebitundu ebimu birina abasomesa abatali batendeke abajja nebasomesa abaana so baba balina okugwa kuba tebamanyi byebasomesa. Tulina n’ebitundu ebirilaanye ensal z’ensi ezirimu obutabanguko, kino nakyo kitaataaganya ensoma y’abaana. Era mujjukire nti abaana banno be bayita mu ‘Covid’ kati tuwulira nti abaana abamu bababusa ebibiina abamu nebatuuka okola ebigezo nga byebaleese mu lupapula tabisomangako.

Eby’abaana abawala siyinza kubibuusa maaso kuba bakosebwa mu butonde ate sikyangu nnyo naddala mu masomero ag’omu byalo agatalina nnyo bikosezebwa kuyamba muwala mukiseera ekya ‘Menstration’ nekimuletera okwosa kyenkana buli mwezi era beesanga tebasomye bulungi.
Ekibuuzo : Amasomero ga Siniya gapaazizza ebisale ekikalubiririza abazadde, bano obawa bubaka ki?
Minisita Kikomeko : Abantu baffe balina okukomya obwa Nnaasiwamukange. Abamasomero basaba ebyetaago n’ebisale nga bingi nebeelabira nti n’abasomesa nabo bazadde.
Kaakati kyandibadde kirungi mukugereka ssente ezo n’olowooza ku bantu abagenda okuleeta abaana ebitundu mwe bava wamu n’emisala gyabwe kubanga abasinga obungi bantu bawansi.